YISAAYA 46
46
1“Balubaale b'e Babilooni
kati bukomye obwabwe!
Beeli avuunama,
Neebo akutamya omutwe wansi.
Batikkiddwa ku ndogoyi ne ku nte.
Ebifaananyi byabwe ebisinzibwa
bifuuse migugu ku migongo
gy'ensolo ezikooye.
2Ebifaananyi ebyo bikutama,
ne bivuunamira wamu.
Tebiyinza kuyamba baabikola,
naye nabyo byennyini
bitwalibwa nga bisibe.
3“Muwulire kye ŋŋamba,
mmwe ab'ennyumba ya Yakobo,
mwenna abasigaddewo ku Bayisirayeli,
be nasitulanga ne mpeeka
okuva lwe mwazaalibwa.
4Ne bwe mulikula
ne mukaddiwa,
ne bwe mulimera envi,
nnaabalabiriranga.
Nze nabatonda.
Nnaabakuumanga,
era nnaabataasanga.
5“Ani gwe mulinfaananya
ne mumunnenkanya,
oba gwe mulingeraageranya naye
nti anfaanana?
6Abantu kye babeeredde
bafukumula ensawo zaabwe
ne baggyamu zaabu
era ne bapima ffeeza mu minzaani
ne basasula omuweesi wa zaabu,
n'aweesa lubaale mu zaabu oyo
ne bavuunamira lubaale oyo,
ddala ne bamusinza.
7Bamukongojja ku bibegabega,
bamusitula ne bamusimba
mu kifo kye mw'atayinza kweggya.
Bwe wabaawo ajja n'amukaabirira,
lubaale oyo tayinza kumwanukula,
wadde okumuwonya mu nnaku ye.
8“Mujjukire ekyo, mube bawulize,
era mukirowoozeeko bajeemu mmwe.
9Mujjukire ebyabaawo edda n'edda
mumanye nga Nze Katonda nzekka,
tewali mulala,
era tewali anfaanana.
10Okuva mu kutandika,
nnanga nga bukyali
ebiribaawo ku nkomerero.
Okuviira ddala mu kiseera eky'edda,
ndaga ebitannaba na kukolebwa,
nga nkakasa nti bye ntegeka
tebirirema kutuukirira,
era nti ndikola byonna
bye njagala okukola.
11Mpita omusajja
okuva mu nsi ey'ewala.
Aliwanuka okuva ebuvanjuba
ng'ali ng'ekinyonyi ekiyizzi,
n'ajja akola kye njagala.
Mazima nkyogedde
era ndikituukiriza,
n'ekyo kye nateesa, ndikikola.
12“Muwulirize kye ŋŋamba
mmwe ab'emitima emikakanyavu,
abalowooza nti obuwanguzi buli wala.
13Nsembeza olunaku olw'obuwanguzi,
terujja kuba wala.
Sirirwawo kulokola bantu bange.
Ndiwonya Siyooni abalabe,
ne mba waakitiibwa mu Yisirayeli.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.