YISAAYA 45
45
Mukama alonda Kuuro#Laba ne 2 Byom 36:23; Ezer 1:2
1Mukama yalonda Kuuro
okuba kabaka,
n'amutuma okujeemulula amawanga,
n'okuggyako bakabaka obuyinza.
Mukama alimuggulirawo
emiryango gy'ebibuga
ne wataba agiggalawo.
Mukama agamba Kuuro oyo nti:
2“Ndikukulemberamu,
ne nseeteeza awatali wasende.
Ndimenyaamenya enzigi ez'ekikomo
ne nkutula ebizisiba eby'ekyuma.
3Ndikuwa obugagga obukwekeddwa
mu kizikiza mu bifo eby'ekyama,
olyoke omanye nga Nze, Mukama,
Katonda wa Yisirayeli,
Nze nkuyita erinnya lyo.
4Olw'omuweereza wange Yakobo,
Yisirayeli omulondemu wange,
nkuyitidde ddala linnya lyo.
Nkutuumye erinnya
newaakubadde nga ggwe tommanyi.
5“Nze Mukama nzekka,
teri mulala.
Nze nzekka Nze Katonda.
Ndikuwa amaanyi ge weetaaga,
newaakubadde nga ggwe tommanyi.
6Kino nkikoze, bonna balyoke bamanye
okuva ebuvanjuba
okutuuka ebugwanjuba,
nga Nze nzekka, Nze Mukama,
tewali mulala.
7Nze nteekawo ekitangaala
era Nze ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta emirembe,
Nze ntondawo akabi.
Nze Mukama, Nze nkola ebyo byonna.
8Ggwe ggulu, tonnyesa obutuufu,
buwanuke mu bire ng'enkuba,
ensi eyasame ebufune,
eryoke ebeemu
eddembe awamu n'obwenkanya.
Nze Mukama, Nze ntondawo ekyo.”
Mukama ye Muyinzawaabyonna
9Zimusanze oyo awakanya Eyamutonda
kubanga aba ng'ekibumbe
ekiwakanya akibumbye.
Ebbumba liyinza okubuuza alibumba nti:
“Obumba ki?”
Oba ekyo ky'okoze
kiyinza okukugamba nti:
“Tokozesezza magezi?”#Laba ne Bar 9:20
10Zimusanze oyo
agamba kitaawe ne nnyina
nti “Mwanzaalira ki?”
11Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli,
era Omutonzi we, agamba nti:
“Munambuuza ebigenda okujja,
n'ebifa ku baana bange,
oba okundagira eky'okukola?
12Nze natonda ensi
era n'abantu abagibeeramu.
Nakozesa buyinza bwange,
ne mmamba eggulu,
era Nze nfuga ebyo
ebiririko byonna.
13Ne Kuuro Nze mmulagidde asituke,
ajje aluŋŋamye ebintu.
Nditereeza amakubo gonna g'ayitamu.
Alizimba buggya
ekibuga kyange Yerusaalemu,
era aliteera ddala
abantu bange abaanyagibwa.
Alikikola nga taguliriddwa,
wadde okuweebwa empeera.”
Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde.
14Mukama agamba Yisirayeli nti:
“Ebyobugagga bya Misiri,
n'ebyamaguzi bya Kuusi,
birifuuka bibyo.
N'Abaseeba, abantu abawanvu,
balikwewa, ne baba babo.
Balikugoberera
nga basibiddwa enjegere.
Balijja w'oli,
ne bakuvuunamira,
ne bakwegayirira
nga bagamba nti:
‘Mazima Katonda ali mu ggwe,
era Ye yekka, ye Katonda,
tewali mulala.’ ”
15Ayi Katonda wa Yisirayeli,
ggwe Omulokozi,
mazima oli Katonda eyeekweka!
16Abakola ebifaananyi bye basinza
bonna awamu we bafabenkana
balikwatibwa ensonyi,
ne baswazibwa.
17Naye Mukama ye aliyamba Yisirayeli
n'obuyambi obutaggwaawo.
Mmwe Abayisirayeli,
temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswazibwenga emirembe n'emirembe.
18Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda.
Ye yakola ensi n'agibumba.
Yagikola n'aginyweza.
Teyagitonda kuba njereere,
yagibumba kubeeramu bantu.
Ye wuuyo agamba nti:
“Nze Mukama, era tewali mulala.
19Soogereranga mu kyama,
mu nsonda y'ensi ey'ekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo
nti: ‘Munnoonyeze bwereere.’
Nze Mukama, njogera mazima,
mbuulira abantu ebituufu.”
Mukama ye afuga ensi yonna
20Mukama agamba nti:
“Mwekuŋŋaanye mujje.
Musembere we munaawoleza,
mmwe abawonyeewo ku b'amawanga amalala.
Abantu abatambula nga basitudde
ebifaananyi eby'emiti ebyole,
ne beegayirira lubaale
atayinza kulokola,
abo tebalina magezi.
21Mwanjule empoza yammwe,
n'abawolereza bammwe
beegeyeze wamu.
Ani yalanga okuva edda n'edda
ekyo ekiribaawo?
Si Nze Mukama?
Tewali Katonda mulala
okuggyako Nze,
Omutuukirivu era Omulokozi.
Tewali mulala, wabula Nze.
22“Mutunuulire Nze mulokolebwe,
mmwe ab'omu nsonda zonna ez'ensi,
kubanga Nze Katonda,
era tewali mulala.
23Nsuubizza nga ndayira,
Nze Nzennyini njogedde
ekigambo kye sirijjulula
nti Nze Omutuukirivu
buli vviivi lirinfukaamirira,
buli lulimi lulirayira Nze.#Laba ne Bar 14:11; Baf 2:10-11
24“Baligamba nti mu Nze Mukama
mwokka mwe muli
obutuukirivu n'amaanyi.
Naye bonna abankyawa,
balikwatibwa ensonyi ne baswala.
25Mu Nze Mukama,
ezzadde lyonna erya Yisirayeli
mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.