رفتن به محتوا

YISAAYA 44

44
Mukama yekka ye Katonda
1Mukama agamba nti:
“Kale kaakano muwulire
mmwe bazzukulu ba Yakobo
omuweereza wange,
mmwe Abayisirayeli be neeroboza.
2Nze Mukama eyabatonda, eyababumba
mu lubuto, era alibayamba ŋŋamba
nti: Temutya, muli baweereza bange,
abantu bange abalondemu be njagala.
3“Ensi erakasidde
ndigiwa amazzi;
era ndikulukusa emigga
ku ttaka erikaze.
Ndifuka Mwoyo wange
ku b'ezzadde lyammwe;
n'omukisa gwange
ndiguwa bazzukulu bammwe.
4Balikula bulungi ng'omuddo
ogumeze awali amazzi,
baligimuka ng'ebimera
eby'oku mabbali g'omugga.
5“Walibaawo agamba nti:
‘Ndi wa Mukama.’
Omulala alyetuuma
erinnya lya Yakobo,
n'omulala aliwandiika
ku mukono gwe
nti wa Mukama,
ne yeebalira mu Bayisirayeli.”
6Mukama, Kabaka wa Yisirayeli
era Omununuzi we,
Mukama Nnannyinimagye, agamba nti:
“Nze ntandikwa,
era Nze nkomerero;
era nzekka, Nze Katonda.
Teri Katonda mulala, wabula Nze.#Laba ne Yis 48:12; Kub 1:17; 2:8; 22:13
7Kale ani ali nga Nze?
Bw'abaayo, akirangirire, akyogere,
akiteeke mu maaso gange.
Ani okuva edda, eyalangirira ebiribaawo?
Kale abuulire abantu
n'ebyo ebiribaawo gye bujja.
8Temutya era temuggwaamu maanyi.
Mumanyi ng'okuva edda
n'okutuusa kati,
mbabuulira ebiribaawo.
Era mmwe bajulizi bange.
Ate eriyo Katonda omulala
okuggyako Nze?
Nze nzekka Nze Lwazi omwewogomwa,
simanyiiyo mulala.”
Okusinza ebifaananyi tekigasa
9Abo bonna abakola ebifaananyi ebisinzibwa, temuli kantu. N'ebifaananyi byabwe ebyo ebibeeyagaza, tebiriiko kye bigasa. N'ababisinza, tebalaba, era tebaliiko kye bamanyi, ne kye bakola, kibaswaza. 10Ani yali akoze lubaale, oba n'aweesa ekifaananyi kya lubaale, n'aba nga tatawaanidde bwereere? 11Buli alikisinza alikwatibwa ensonyi. Ate nno abakola ebifaananyi ebyo bantu buntu, tebalinaayo kirala. Basaanye bonna baleetebwe, bayimirire wamu, bawozesebwe. Balitya era balikwatibwa wamu ensonyi.
12Omuweesi ng'aweesa ekifaananyi ekisinzibwa, aleeta ekyuma, n'akifukutira mu manda, n'akikuba n'ennyondo, ng'akozesa omukono gwe ogw'amaanyi. Bw'amala ebyo olwo n'alumwa enjala, n'aggwaamu amaanyi. Bw'atanywa ku mazzi n'ayenjebuka.
13Ye omubazzi aleega ku muti olukoba lwe olupima, n'agulamba n'ekkalaamu. Agulanda n'eranda, n'agupimisa ekyuma kye ekipima, n'agukolamu ekifaananyi ekirungi nnyini ekifaanana ng'omuntu, n'akiteeka mu ssabo. 14Ayinza okutema enzo, oba alondawo okutema omuyovu, oba omuvule, mu kibira. Oba ayinza okusimba enkanaga, enkuba bw'etonnya n'egikuza. 15Oluvannyuma omuntu oyo afunako enku. Atwalako, n'akuma omuliro, n'ayota, n'afumbisa n'emmere. Ekitundu ekisigaddewo n'akikolamu lubaale, n'amusinza; ekifaananyi ekyo ekyole n'akivuunamira. 16Enku ezimu azikumisa omuliro, endala n'azookesa ennyama n'alya, n'akkuta. Ayota omuliro, n'agamba nti: “Otyo, akaliro kalungi, kambugumizza!” 17Ekitundu ky'omuti ekifisseewo, n'akifuula lubaale. Ekifaananyi kye ekyole, n'akivuunamira, n'akisinza, n'akiwanjagira ng'agamba nti: “Mponya, kubanga ggwe lubaale wange.”
18Abantu abo tebamanyi, era tebalowooza. Katonda azibye amaaso gaabwe n'emitima gyabwe, ne batayinza kulaba, wadde okutegeera. 19Omukozi w'ekifaananyi kya lubaale yeerabira, era tafumiitiriza, wadde okutegeera, asobole okugamba nti: “Ekitundu ky'omuti ogwo nkikumyeko omuliro, ne nfumba emmere ku manda gaakyo, era njokezza ennyama ne ngirya. Ekitundu kyagwo ekifisseewo, ate kye nnaafuula lubaale, nvuunamire ekitundu ky'omuti?”
20Oyo omuntu aba ng'alya evvu. Aba yeerimba era ng'awabye, nga takyalimu keeyamba kuwonya bulamu bwe, wadde okwebuuza nti: “Ekifaananyi kye nkutte mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba bwereere?”
Mukama ye Mutonzi era Omulokozi
21Mukama agamba nti:
“Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo,
kubanga oli muweereza wange,
ggwe Yisirayeli.
Nakutonda obe muweereza wange.
Ggwe Yisirayeli, sirikwerabira.
22Njezeewo ebibi byo
ne bivaawo ng'ekire,
n'ebyonoono byo
ne biggwaawo ng'olufu.
Komawo gye ndi,
kubanga nakununula.”
23Ggwe eggulu, yimba,
kubanga Mukama ye akoze ekyo.
Muleekaane mmwe
ebitundu by'ensi ebyawansi.
Mubaguke muyimbe mmwe ensozi;
naawe ggwe ekibira,
na buli muti oguli mu ggwe;
kubanga Mukama yanunula
bazzukulu ba Yakobo,
era aliraga ekitiibwa kye
mu Bayisirayeli.
24Mukama Omununuzi wo,
era eyakubumba mu lubuto lwa nnyoko
agamba nti:
“Nze Mukama akola byonna.
Nze nabamba eggulu obwomu,
Nze nayanjuluza ensi,
awatali yankwatirako.
25Nze mmalawo ebyewuunyo
ebikolebwa abalanzi ab'obulimba,
abalogo ne mbafuula abasiru.
Nze mmulungula ebigambo by'abagezi,
ne ndaga nti bye bayita eby'amagezi,
ddala biba bya busiru.#Laba ne 1 Kor 1:20
26Naye nnyweza
ebyogerwa omuweereza wange,
ntuukiriza
omubaka wange by'alangirira.
Ŋŋamba nti Yerusaalemu
kiribeeramu abantu,
n'ebibuga bya Buyudaaya
birizimbibwa buggya.
27Nze ndagira,
ne nkaliza obuziba bw'ennyanja,
awamu n'emigga.
28Nze njogera ku Kuuro
nti ye mufuzi gwe ntaddewo,
era alituukiriza byonna bye njagala.
Nze ndagira Yerusaalemu nti:
‘Zimbibwa buggya,’
n'Essinzizo nti:
‘Emisingi gyo gizimbibwe.’ ”