YISAAYA 43
43
Katonda asuubiza okununula abantu be
1Naye kaakano ggwe Yisirayeli
Mukama eyakutonda, agamba nti:
“Totya, kubanga nakununula
Nakuyita erinnya lyo,
oli wange.
2Bw'oliba oyita mu mazzi amangi
ndiba wamu naawe,
n'emigga gy'oyitamu
tegirikusaanyaawo.
Ne bw'oliyita mu muliro,
nagwo tegulikwokya.
Tolituusibwako kabi,
3kubanga Nze Mukama Katonda wo,
Omutuukirivu wa Yisirayeli,
Omulokozi wo.
Nawaayo Misiri okuba omusingo
ogw'okununula ggwe,
ne mpaayo Kuusi ne Seeba
mu kifo kyo.
4Ndiwaayo abantu n'amawanga
okuwonya obulamu bwo,
kubanga ku Nze
oli wa muwendo nnyo
era waakitiibwa,
era nkwagala nnyo.
5“Totya, kubanga Nze
ndi wamu naawe.
Ndikuŋŋaanya abantu bo,
ne mbaleeta okubaggya
ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
6Ndigamba obukiikakkono okubata,
n'obukiikaddyo obutabalemera;
abantu bange abasajja n'abakazi balekebwe
badde mu nsi yaabwe
okuva mu nsi ez'ewala
ne mu buli kasonda ak'ensi.
7Buli omu ku bo
namuwa erinnya, wange,
namutondera kumpa kitiibwa.
Ddala ekyo kye namubumbira
ne mussaawo.”
Abayisirayeli bajulizi ba Mukama
8Mukama agamba nti:
“Muleete abantu bange bawozesebwe
Balina amaaso, naye bamuzibe;
balina amatu, naye bakiggala.
9Muyite ab'amawanga gonna,
abantu bakuŋŋaane wamu.
Ani mu balubaale baabwe
ayinza okutubuulira ebyo
ebigenda okubaawo,
n'atubuulira n'ebyo
ebyabaawo edda?
Baleete abajulizi baabwe
okubakakasa nti batuufu.
Boogere nti bye baawulira,
ddala byali bya mazima.
10“Mmwe Abayisirayeli,
muli bajulizi bange
era mmwe Muweereza wange
gwe neeroboza,
mulyoke mummanye
era munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo
Katonda nzekka.
Tewabangawo Katonda mulala
yansooka kubaawo,
era tewaliba anziririra.
11“Nze nzekka, Nze Mukama
era Nze nzekka, Nze Mulokozi.
12Nayogera ebiribaawo
era ne mbayamba,
ne nkirangirira
nga tewali lubaale
yali akikoze.
Mmwe bajulizi bange.
Nze Mukama njogedde.
Nze Katonda,
13era bulijjo, bwe ntyo
bwe nnaabeeranga.
Tewali ayinza kweggya
mu buyinza bwange.
Kye mba nkoze
tewali ayinza kukijjulula.”
Okuggyibwa e Babilooni
14Mukama Omununuzi wammwe,
era Omutuukirivu wa Yisirayeli
agamba nti:
“Okubawonya mmwe
ndisindika eggye
okulumba Babilooni.
Ndimenya ebisiba
emiryango gy'ekibuga,
era n'okuleekaana kw'Abakaludaaya
okubadde okw'essanyu,
ndikufuula kutema miranga.
15Nze Mukama, Omutuukirivu wammwe,
Omulokozi wa Yisirayeli,
era Kabaka wammwe.”
16Edda Mukama yatema
oluguudo mu nnyanja,
n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.
17Yasaanyaawo eggye eddene ery'abaserikale
abalina amagaali n'embalaasi.
Baagwa ne bagaŋŋalama
obutakyaddayo kuyimukawo,
nga bonna bazikidde,
ddala bazikidde
ng'olutambi lw'ettaala.
18Mukama oyo agamba nti:
“Temutunuulira bya dda,
ebyaliwo mu mirembe egiyise.
19Kati mutunule mulabe:
ŋŋenda kukolawo ekiggya,
era nakitandiseeko dda.
Nja kutema oluguudo mu nkoola,
ndeete n'amazzi mu ddungu.
20N'ensolo ez'omu ttale
zinanzisaamu ekitiibwa;
ebibe ne bimmaaya bintendereze
nga ndeese emigga mu ddungu,
okuwa amazzi abantu bange abalondemu.
21Be bantu bange,
Nze Nzennyini be nategeka
boolesenga ettendo lyange.”
Abayisirayeli obutasiima
22Mukama agamba nti:
“Naye mwanneetamwa mmwe,
bazzukulu ba Yakobo.
Mmwe Abayisirayeli, temwansinza!
23Temwandeetera ndiga zammwe
ez'ebiweebwayo ebyokebwa,
wadde okunzisaamu ekitiibwa
nga mumpa ebitambiro.
Sibakaluubiriranga
nga mbasaba ebiweebwayo,
era sibakooyanga
nga mbapeeka obubaane
obw'okunnyookereza.
24Temwawaayo ssente
kungulira bikajjo ebiwoomu,
era temwanzikusa
na masavu ga nsolo zammwe.
Naye mu kifo ky'ebyo,
mwantikka mugugu
gwa bibi byammwe,
mwankooya na nsobi zammwe.
25Nze Nzennyini, Nze nsonyiwa
ebibi byammwe ku lwange,
siriddayo kubibavunaana.
26“Twejjukanye, tukubaganye ensonga.
Mwewozeeko mulage
nga bwe muli abatuufu.
27Jjajjammwe eyasooka yayonoona,
n'abayigiriza bammwe
baakola ebibi, ne bannyiiza.
28Kyendiva mmalamu ekitiibwa
abalabirira Ekifo Ekitukuvu.
Bazzukulu ba Yakobo
ndibawaayo okuzikirira;
ndireka Abayisirayeli okuvumibwa.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.