رفتن به محتوا

YISAAYA 42

42
Omuweereza wa Mukama
1Mukama agamba nti:
“Omuweereza wange wuuno
gwe mpanirira.
Omulondemu wange,
gwe neeyagaliramu.
Namujjuzaamu Mwoyo wange,
alyoke aleete obwenkanya
mu mawanga.#Laba ne Mat 3:17; 17:5; Mak 1:11; Luk 3:22; 9:35#Laba ne Mat 12:18-21
2Talireekaana
era taliyimusa ddoboozi lye,
wadde okuliwuliza mu nguudo.
3Olumuli olwatiseyatise
talirumenya,
n'olutambi oluzimeera
taliruzikiza,
wabula alireetera bonna
obwenkanya obwa nnamaddala.
4Taliggwaamu ssuubi,
wadde okuterebuka.
Aliteekawo obwenkanya mu nsi,
era ab'omu nsi ez'ewala,
balindirira n'essanyu by'ayigiriza.”
5Mukama Katonda
ye yatonda eggulu n'alibamba.
Ye yayanjuluza ensi
n'ebigirimu byonna.
Abantu abagibeeramu
era abagitambuliramu,
ye yabateekamu omukka
n'omwoyo ogw'obulamu.
Kaakano Mukama oyo,
agamba omuweereza we nti:#Bik 17:24-25
6“Nze Mukama, nakuyita
okuleetera abantu obwenkanya.
Nakukwata ku mukono,
era ne nkukuuma.
Ndiyita mu ggwe,
okukola endagaano
n'abantu bonna,
era ndiyita mu ggwe
okuleetera amawanga ekitangaala.#Laba ne Yis 49:6; Luk 2:32; Bik 13:47; 26:23
7Olizibula amaaso ga bamuzibe.
Oliggya abasibe mu kkomera,
n'owa eddembe abo
abasibiddwa mu nzikiza.
8“Nze Mukama.
Eryo lye linnya lyange,
era ekitiibwa kyange
sirikigabira mulala,
wadde ettendo lyange okuliwa
ebifaananyi ebyole.
9Ebintu bye nalanga edda,
kaakano bituukiridde.
Kati nja kubabuulira ebiggya,
nga tebinnatandika kubaawo.”
Oluyimba olutendereza Mukama
10Muyimbire Mukama
oluyimba oluggya.
Ensi yonna eyimbe ettendo lye.
Mumutendereze mmwe
abatambula eŋŋendo ku nnyanja.
Mumutendereze mmwe ebitonde
ebisangibwa mu nnyanja.
Muyimbe mmwe ensi eziri ewala,
n'abazibeeramu mwenna.
11Eddungu n'ebibuga byonna
bisitulire wamu amaloboozi
n'ebyalo by'Abakedari.
Abatuuze b'omu Seela
bayimbe basaakaanye,
nga basinziira ku ntikko z'ensozi.
12Abo abali mu nsi ez'ewala
batendereze Mukama,
era bamusseemu ekitiibwa.
13Mukama avaayo okulwana
ng'omuzira ow'amaanyi.
Alaga obukambwe ng'omuserikale.
Akuba enduulu ey'olutalo,
erimu n'okuleekaana.
Alaga obuyinza bwe
obulwanyisa omulabe.
Katonda asuubiza okuyamba abantu be
14Mukama agamba nti:
“Mmaze ebbanga liweze
nga ŋŋumiikirizza, nsirise.
Naye kaakano nja kuleekaana
ng'omukazi alumwa okuzaala.
Nja kuwejjawejja, nsinde.
15Nja kuzikiriza ensozi n'obusozi,
nkaze n'omuddo gwonna oguliko.
Ebiwonvu by'emigga
ndibifuula ebizinga,
ne nkaliza ebidiba by'amazzi.
16“Ndikulembera bamuzibe,
ne mbayisa mu makubo
ge batamanyi.
Ekizikiza ndikifuula ekitangaala
mu maaso gaabwe,
ne mbaseeteereza ebifo mwe bayita.
Ebyo ndibibakolera,
era siribaabulira.
17Abeesiga ebifaananyi ebyole,
abagamba ebifaananyi ebikole
nti: ‘Mmwe Katonda waffe’.
Balitoowazibwa
ne bazzibwa emabega,
ne baswazibwa nnyo.”
Abayisirayeli obutayiga
18Mukama agamba nti:
“Muwulire mmwe bakiggala,
mutunule mmwe bamuzibe
musobole okulaba.
19Ani muzibe okusinga
omuweereza wange?
Oba ani kiggala
okusinga omubaka wange
gwe ntuma?
Ddala ani muzibe ng'oyo
eyatabagana nange?
Ani muzibe ng'omuweereza wange
Nze Mukama?
20Ggwe Yisirayeli, olaba bingi,
naye teweetegereza.
Olina amatu agawulira,
naye towulira.”
21Mukama olw'okwagala
okulokola abantu,
yasiima okugulumiza Amateeka ge,
abantu bagassengamu ekitiibwa.
22Naye abantu be bano
babbibwa ne banyagibwa,
bonna bategebwa mu bunnya,
ne bakwekebwa mu makomera.
Bayiggibwa ne wataba abawonya,
banyagibwa ne wabula abakomyawo.
23Ani ku mmwe anaawuliriza ekyo?
Ani anaategereza n'awulira
eby'omu kiseera ekigenda okujja?
24Ani yawaayo bazzukulu ba Yakobo
okunyagibwa?
Ani yagabula Yisirayeli
mu mikono gy'abanyazi?
Yali Mukama yennyini,
gwe twanyiiza nga tukola ebibi.
Abantu baagaana
okukola by'ayagala,
ne bajeemera amateeka ge.
25Kyeyava abasunguwalira
n'abakwatirwa ekiruyi,
n'abasindikira entalo.
Obusungu bwe ne bwaka ng'omuliro
mu Yisirayeli yonna.
Naye ne tutamanya biriwo,
era ne tutabaako kye tuyiga!