YISAAYA 41
41
Okusalira amawanga omusango
1Katonda agamba nti:
“Musirike mu maaso gange
mmwe ebizinga,
muwulirize kye ŋŋamba.
Amawanga gaddemu amaanyi,
gasembere kumpi okuwoza.
Tukuŋŋaane wamu
okuwozesa omusango.
2“Ani yayita omuntu oyo
okumuggya ebuvanjuba
n'agenda ng'awangula
buli w'atuuka wonna?
Amugabula amawanga agawangule,
afufuggaze bakabaka.
Abasaanyaawo n'ekitala,
aleka abafudde bangi ng'enfuufu.
Obusaale bwe bubasaasaanya,
ne baba ng'ebisusunku
ebikuŋŋunsibwa embuyaga.
3Abawondera n'atambula mirembe,
ng'ayita mu kkubo ly'atayitangamu.
4Ani akkiriza ebyo byonna bibeewo,
eyabitegeka okuva olubereberye?
Ye Nze Mukama ow'olubereberye,
era ye Nze enkomerero ya byonna.
5“Abatuuze b'omu bizinga
n'ab'omu nsi eziri ewala
baalaba bye nkoze ne batya,
ne beekuŋŋaanya, ne bajja
6Buli omu n'ayamba munne
era n'amugamba nti: ‘Guma!’
7Omubazzi w'ekifaananyi kye basinza
agumya omuweesi wa zaabu.
Oyo akuba ennyondo okuttaanya,
n'agumya akomereramu emisumaali
nti: ‘Kye tukoze kye kyo, kirungi!’
Ne bakikomerera n'enninga
kireme kusagaasagana.
8“Naye ggwe, Eggwanga lya Yisirayeli,
omuweereza wange,
muzzukulu wa Yakobo
gwe neeroboza,
ggwe zzadde lya Aburahamu
mukwano gwange.#Laba ne 2 Byom 20:7; Yak 2:23
9Nakuggya ku nkomerero y'ensi,
ne nkuyita okuva ku nsonda zaayo,
ne nkugamba nti:
‘Ggwe muweereza wange!’
Nakweroboza era sikuboolanga.
10Totya, kubanga Nze,
ndi wamu naawe.
Teweeraliikirira,
kubanga Nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi,
era nnaakuyambanga.
Ddala nnaakuwaniriranga
n'omukono gwange ogwa ddyo
nga nkozesa obwenkanya.
11“Kale abo bonna
abakusunguwalidde,
balikwatibwa ensonyi
era baliswazibwa.
N'abo abakulwanyisa
balimalibwawo
ne bazikirizibwa.
12Olibanoonya,
naye tolibazuula.
Abo abakwesimbamu
ne beefuula abalabe bo
balisaanyizibwawo,
ne baba ng'abatabangawo.
13Kubanga Nze Mukama, Katonda wo,
Nze nkuwa amaanyi,
era nkugamba nti: ‘Totya,
Nze nnaakuyambanga.’ ”
14Mukama Omununuzi wo
era Omutuukirivu wa Yisirayeli
agamba nti:
“Totya, Yisirayeli,
ggwe omutono ng'olusiriŋŋanyi.
Nze nja kukuyambanga.
15Laba, ndikufuula ekintu
ekiwuula, era ekikyali ekiggya,
ekyogi, era ekirina amannyo.
Oliwuula ensozi n'ozaasaayasa,
n'obusozi n'obufuula enfuufu.
16Olibiwewa, empewo n'ebifuumuula,
embuyaga ez'akazimu
ne zibisaasaanya.
Olwo olisanyukira mu Nze, Mukama.
Olinneenyumiririzaamu,
Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
17“Abantu bange abanaku
abatalina kantu,
bwe balinoonya amazzi
ne gababula,
emimiro ne gibakala olw'ennyonta,
Nze Mukama ndiwulira kye basaba.
Nze Katonda wa Yisirayeli
siribalekerera.
18Ndizibukula emigga
okuva mu bifo ebigulumivu,
era nditeekawo enzizi mu biwonvu.
Ndifuula eddungu
ekiyanja ky'amazzi,
n'ettaka ekkalu ndirifuula
ensulo ezikulukuta.
19Ndimeza emivule mu ddungu
n'emiti egya kasiya,
n'emimwanyi, n'emizayiti.
Mu ttaka ekkalu, ndimezaamu
emisizi, n'emiyovu, ne nnamukago,
nga giri wamu.
20Olwo abantu baliraba ne bamanya
era balirowoolereza
ne bategeerera ddala
nga Nze Mukama,
Nze nkoze kino,
era nga Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli,
Nze nkitaddewo.”
Mukama asoomooza balubaale
21Mukama, Kabaka wa Yakobo,
agamba nti:
“Mmwe balubaale b'amawanga
mwanjule ensonga zammwe.
Muleete ezisingira ddala
okuba ez'amaanyi.
22Mujje mutubuulire ebiribaawo,
tumanye we biribeererawo.
Era mwogere ebyabaawo,
munnyonnyole amakulu gaabyo,
tubirowoozeeko
era tumanye ekinaabivaamu.
Oba mu tubuulire
ebiri eyo gye bujja.
23Mwanjule ebiribaawo oluvannyuma,
tulyoke tukakase
nti ddala muli balubaale.
Mubeeko ekirungi kye mukola
oba akabi ke muleeta,
mutujjuze okutya
n'okweraliikirira.
24Mmwe mwennyini temuli kantu,
ne bye mukola tebiriimu kantu.
Alondawo okubasinza, aba kyenyinyalwa.
25“Nalonda omusajja
ava ebukiikakkono,
era wuuyo atuuse.
Ava ebuvanjuba,
ng'akoowoola erinnya lyange.
Alirinnyirira abafuzi ng'ettaka,
era ng'omubumbi
bw'asamba ebbumba.
26Ani ku mmwe eyalanga edda
nti kino kirituukirira,
tulyoke tumanye
nti yali mutuufu?
Ku mmwe tewali yakyogerako.
Tewali muntu yawulira
kigambo na kimu kye mwayogera.
27Nze Mukama, Nze nasooka
okukibuulira Siyooni,
era ne ntuma ababaka,
okubuulira Yerusaalemu
amawulire amalungi nti:
‘Laba, baabo, baabo,
abantu bo bakomawo!’
28Bwe ntunula mu balubaale,
sirabamu alimu kantu.
Era mu bo temuli
muwi wa magezi
gwe mbuuza kibuuzo, n'anziramu.
29Balubaale bonna abo,
tebalina mugaso.
Tebaliiko kye basobola kukola.
Ebifaananyi byabwe ebiweese,
mpewo era temuli makulu.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.