رفتن به محتوا

YISAAYA 40

40
Okulanga ebigumya abantu
1“Mugumye abantu bange,
ddala mubagumye.”
Bw'atyo bw'ayogera Katonda wammwe.
2“Mwogere ebizzaamu
ab'omu Yerusaalemu amaanyi.
Mubagambe nti okubonaabona kwabwe
kaakano kuwedde,
ebibi byabwe bisonyiyiddwa.
Nze Mukama mbawadde
ekibonerezo ekimala,
nga mbalanga ebibi byabwe.”
3Eddoboozi ery'omwanguka
ligamba nti:
“Mulongooseze Mukama
ekkubo mu lukoola,
mutereereze Katonda waffe
oluguudo mu ddungu.#Laba ne Mat 3:3; Mak 1:3; Yow 1:23#Laba ne Luk 3:4-6
4Buli kiwonvu kijjuzibwe.
Buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe,
ebikyamu bigololwe,
n'ebifo ebitali bisende,
bitereezebwe.
5Olwo ekitiibwa kya Mukama
kiriragibwa,
era abantu bonna balikiraba,
kubanga Mukama yennyini
ye ayogedde.”
6Awo ddoboozi ne ligamba nti:
“Langirira!”
Nze ne mbuuza nti: “Kiki
kye mba nnangirira?”
Ne liddamu nti:
“Langirira nti abantu bonna
bali nga muddo,
n'okunyirira kwabwe kwonna
kuli nga kimuli kya mu ttale.#Laba ne Yak 1:10-11; 1 Peet 1:24-25
7Omuddo gukala,
n'ekimuli kiyongobera
Mukama bw'asindika embuyaga
n'ebifuuwako.
Ddala abantu bali nga muddo:
nabo tebawangaala.
8Weewaawo omuddo gukala
n'ekimuli kiyongobera;
naye ekigambo kya Katonda waffe
kibeerawo ennaku zonna.”
9Ggwe abuulira Siyooni
amawulire amalungi,
linnya waggulu
ku lusozi oluwanvu.
Ggwe abuulira Yerusaalemu
amawulire amalungi,
yimusa eddoboozi,
oyogeze maanyi.
Liyimuse, totya.
Gamba ebibuga bya Buyudaaya,
nti: “Katonda wammwe wuuno!”
10Ddala Mukama Afugabyonna
wuuno ajja n'amaanyi,
n'obuyinza bw'afugisa.
Wuuno ali n'ebirabo,
era n'empeera by'aligaba.#Laba ne Yis 62:11; Kub 22:12
11Aliisa endiga ze
ng'omusumba bw'aliisa.
Ento azikuŋŋaanya,
n'azireetera mu mikono gye,
n'aziwambaatira mu kifuba kye.
N'enzadde eziyonsa,
azirunda na bwegendereza.#Laba ne Ezek 34:15; Yow 10:11
Obuyinza n'amagezi ebya Katonda
12Ani yali apimye
obungi bw'embatu
z'ayinza okusena mu nnyanja,
oba eyapima eggulu n'oluta?
Ani yali atadde
enfuufu y'oku nsi
ku minzaani epimibwe,
oba ensozi n'obusozi
bipimibwe mu minzaani?
13Ani yali awabudde
Mwoyo wa Mukama,
oba eyali amuwadde amagezi
n'amuyigiriza?#Laba ne Bar 11:34; 1 Kor 2:16
14Katonda yali yeebuuzizza ku ani,
gw'asaba amuwe amagezi?
Ani yali amuyigirizza,
n'amulaga bw'aba asala ensonga?
Ani yali amunnyonnyodde
amanye era ategeere
ebintu nga bwe bikolebwa?
15Ku Mukama amawanga
gali ng'ettondo
mu nsuwa y'amazzi;
gali ng'olufufugge
oluli ku minzaani.
Laba, asitula ebizinga
ng'ekintu ekitono ennyo.
16Ebibira by'e Lebanooni,
byonna tebivaamu nku
ziyinza kumala Mukama;
n'ensolo zaamu, tezimala
okuba ebiweebwayo ebyokebwa.
17Amawanga gonna
si kantu mu maaso ge,
gali nga birerya byereere.
18Kale ani gwe mugeraageranyaako Katonda?
Oba kiki kye mulimufaananya?#Laba ne Bik 17:29
19Ekifaananyi ekyole
omukozi akiyiiya;
n'oyo aweesa
akibikkako zaabu,
era akiweeseza
emikuufu gya ffeeza.
20Omwavu atayinza ebyo,
alondawo muti ogutavunda;
anoonya mukozi ow'amagezi
asseewo ekifaananyi ekyole
ekitagenda kunyeenyezebwa.
21Abange, temumanyi?
Temukiwulirangako?
Temwabuulirwa kuva lubereberye?
Mwali temutegeeranga
okuva ku kutondebwa kw'ensi?
22Katonda ye wuuyo atuula waggulu
w'ensi enneekulungirivu.
Abantu abagiriko basirikitu:
batono bali nga buseenene.
Atimba eggulu ng'olutimbe,
era alibamba ng'eweema
ey'okubeeramu.
23Afufuggaza era atoowaza abafuzi
n'abafuula abatalina bwe bali.
24Baba ng'obumera obwakasimbibwa,
obutannasimba mirandira
wala wansi mu ttaka.
Mukama olusindika embuyaga,
ebufuuwako ne buwotoka.
Bwe wajja kibuyaga ow'amaanyi,
ng'abwerawo ng'ebisusunku.
25Yennyini Omutuukirivu agamba nti:
“Muyinza kungeraageranya n'ani?
Mazima tewali annenkana.”
26Muyimuse amaaso gammwe
mutunule waggulu mulabe.
Ani yatonda ebyo ebiriyo?
Ye oyo aduumira biveeyo ng'eggye,
byonna n'abituuma amannya.
Olw'obukulu bw'amaanyi ge,
n'olw'obuyinza bwe obungi,
tewali na kimu ku byo kibulako.
27Kale bazzukulu ba Yakobo,
ŋŋamba mmwe Abayisirayeli,
muyinza mutya okwemulugunya
nti Mukama tabalumirwa,
era nti ne bwe munyigirizibwa
Katonda wammwe tafaayo?
28Temukimanyi?
Era temukiwulirangako?
Mukama ye Katonda ow'olubeerera.
Ensi yonna gy'efayenkana,
ye yagitonda.
Taggwaamu maanyi, takoowa,
amagezi ge tegategeerekeka.
29Abatendewereddwa, abawa amaanyi;
n'abatakyeyinza nnyini,
abazzaamu endasi.
30Abavubuka nabo bakoowa,
ne bayenjebuka;
n'abasajja abeekiwago,
baggwaamu endasi
ne bagwa wansi.
31Naye abo abeesiga Mukama
amaanyi agaabwe,
galidda buggya.
Balibuuka mu bbanga
n'ebiwaawaatiro ng'empungu.
Balidduka embiro,
ne batakoowa.
Balitambula, ne batayenjebuka.