YISAAYA 35
35
Ekkubo ery'obutuukirivu
1Eddungu n'ensi enkalu birisanyuka
Eddungu lirimulisa ebimuli ng'eby'ejjirikiti.
2Eddungu liriyimba,
ne lireekaana olw'essanyu.
Lirirabika bulungi nga lisanyusa,
ng'ensozi za Lebanooni.
Liriba ggimu ng'ennimiro
ez'e Karumeeli ne Saroni.
Bonna baliraba ekitiibwa kya Mukama,
baliraba amaanyi n'obuyinza
ebya Katonda waffe.
3Munyweze emikono egitalina maanyi,
mugumye amaviivi agajugumira.#Laba ne Beb 12:12
4Mugambe abo abaterebuse
nti: “Mugume, temutya.
Mulabe, Katonda wammwe
ajja okubataasa,
n'okubonereza abalabe bammwe.”
5Olwo amaaso ga bamuzibe galizibuka,
n'amatu ga bakiggala galigguka.#Laba ne Mat 11:5; Luk 7:22
6Olwo awenyera alibuuka ng'ennangaazi
ne kasiru aliyimba,
kubanga emigga gy'amazzi
girikulukutira mu ddungu.
7Omusenyu ogwokya mu ddungu
gulifuuka ekiyanja,
n'ensi enkalu erakasidde
erijjamu ensulo z'amazzi.
Ekifo ebibe mwe byagalamiranga,
kirimeramu omuddo,
n'essaalu n'ebitoogo.
8Walitemwayo oluguudo,
lube ekkubo eriyitibwamu.
Luliyitibwa “Kkubo Ttukuvu.”
Teririyitibwamu batali balongoofu.
Abalitambuliramu,
wadde nga basiru,
tebaliriwabiramu.
9Tewalibaayo mpologoma.
N'ensolo enkavvuzi
teriyita mu kkubo eryo,
naye abo Mukama b'anunudde
be baliritambuliramu.
10Aba Mukama abaguliddwa
balikomawo e Siyooni nga bayimba.
Baliba mu ssanyu ennaku zonna.
Balisanyuka ne bajaguza,
era okunakuwala n'okusinda,
kuliggweerawo ddala.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.