رفتن به محتوا

YISAAYA 36

36
Abassiriya baatiisatiisa Yerusaalemu
(Laba ne 2 Bassek 18:13-27; 2 Byom 32:1-19)
1Awo olwatuuka, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena nga Heezeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula. 2Awo kabaka wa Assiriya oyo n'alagira omukungu we omukulu, ave e Lakisi ng'alina eggye eddene, agende e Yerusaalemu eri Kabaka Heezeekiya. Omukungu oyo bwe yatuukayo, n'agumba mu luguudo ku mabbali g'omukutu gw'ekidiba eky'engulu, awali ekifo ky'omwozi w'engoye. 3Awo abakungu basatu Abayudaaya, Eliyakimu mutabani wa Hilukiya eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi mu lubiri, ne Yoowa, mutabani wa Asafu, eyali omukuumi w'ebiwandiiko, ne bajja okumusisinkana. 4Omukungu oyo Omussiriya n'abagamba nti: “Kaakano mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya akubuuza nti kiki kye weesiga? 5Okwogera obwogezi kwe kunadda mu kifo ky'amagezi n'amaanyi ag'okulwana olutalo? Ani kale gwe weesiga n'okutuuka okunjeemera? 6Laba Misiri gwe weesiga lwe lumuli olwatifu, olufumita ebibatu by'oyo alwesimbaggirizaako ng'omuggo. Bw'atyo kabaka wa Misiri bw'ali eri bonna abamwesiga.’#Laba ne Ezek 29:6-7
7“Naye bw'oŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye wuuyo Heezeekiya gwe yaggyako ebifo bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari eno yokka.’ 8Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala. 9Ggwe atasobola na kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obunafu mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi! 10Era kaakano olowooza nga nnumbye ensi eno okugizikiriza nga Mukama si ye annyamba? Mukama yennyini ye yaŋŋamba nti: ‘Lumba ensi eyo ogizikirize.’ ”
11Awo Eliyakimu ne Sebuna, ne Yoowa, ne bagamba omukungu Omussiriya nti: “Tukwegayiridde, yogera naffe mu lulimi Olwaramayika, kubanga tulumanyi, naye toyogera naffe mu lwaffe Olwebureeyi ng'abantu abali ku kisenge bawulira.”
12Kyokka omukungu Omussiriya n'addamu nti: “Mulowooza nga mukama wange antumye kubuulira mukama wammwe, nammwe mwekka ebigambo bino? Antumye kubuulira n'abasajja abo abali ku kigo ky'ekibuga, abanaatuuka n'okulya empitambi yaabwe, n'okunywa omusulo gwabwe nga mmwe.”
13Awo omukungu oyo n'ayimirira n'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olwebureeyi nti: “Muwulire kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya ky'agamba. 14Kabaka oyo abalabula nti: ‘Heezeekiya aleme kubalimbalimba kubanga tayinza kubawonya. 15Era aleme kubasendasenda kwesiga Mukama, ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya, n'ekibuga kino tekiiweebweyo mu mikono gya kabaka wa Assiriya.’ 16Temuwuliriza Heezeekiya, kubanga kabaka wa Assiriya agamba nti: ‘Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi. Olwo buli omu anaalya ku bibala by'emizabbibu gye n'eby'emitiini gye, era munaanywa amazzi ag'omu nzizi zammwe, 17okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi erimu eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, ensi erimu emigaati, n'ennimiro z'emizabbibu.’ 18Mwegendereze, Heezeekiya aleme kubaguyaaguya ng'agamba nti Mukama ajja kubawonya. Waliwo lubaale n'omu mu balubaale b'amawanga, eyali asobodde okuwonya ensi ye, n'agiggya mu mikono gya kabaka wa Assiriya? 19Bali ludda wa balubaale ba Hamati ne Arupaadi? Bali ludda wa balubaale b'e Sefarivayimu? Balubaale ba Samariya baakiwonya ne bakiggya mu mikono gyange? 20Baani ku balubaale bonna ab'ensi ezo, abaali bawonyezza ensi yaabwe okugiggya mu mikono gyange, Mukama alyoke asobole okuwonya Yerusaalemu okukiggya mu mikono gyange?”
21Naye ne basirika, ne batamuddamu kigambo, kubanga kabaka yali alagidde nti: “Temubaako kye mumuddamu.” 22Awo Eliyakimu mutabani wa Hilukiya era eyali alabirira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoowa mutabani wa Asafu, era eyali omukuumi w'ebiwandiiko ebitongole, ne bajja eri Heezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne bamubuulira ebigambo omukungu wa Assiriya by'ayogedde.