رفتن به محتوا

YISAAYA 34

34
Mukama okusunguwalira amawanga
1Musembere kumpi mmwe
abantu ab'amawanga gonna,
mutege amatu gammwe muwulire.
Ensi n'ebigirimu byonna,
bitegereze, biwulirize.
2Mukama asunguwalidde
amawanga gonna;
alina ekiruyi ku magye gaago gonna,
era agawaddeyo gattibwe,
gazikirizibwe gonna.
3Abantu abanattibwa
tebajja kuziikibwa,
ba kulekebwa awo bavunde,
emirambo gyabwe gikyume
n'ensozi zikulukute omusaayi gwabwe.
4Enjuba n'omwezi n'emmunyeenye
biriwanuka ku ggulu byedomole,
n'eggulu lirizingibwako
ng'omuzingo gw'empapula.
Olwo ebiririko byonna,
birikunkumuka ne bigwa
ng'ebikoola bwe byengerera
ne biva ku muzabbibu,
oba ku muti omutiini.#Laba ne Mat 24:29; Mak 13:25; Luk 21:26; Kub 6:13-14
5Mukama gy'ali mu ggulu,
ategese ekitala kye kikke ku Edomu,
kitte bonna b'akolimidde
era b'asalidde ogw'okuzikirizibwa.#Laba ne Yis 63:1-6; Yer 49:7-22; Ezek 25:12-14; 35:1-15; Am 1:11-12 Ob 1-14; Mal 1:2-5
6Ekitala kya Mukama
kirivulubana omusaayi
n'amasavu eby'abantu,
nga bwe kyandivulubanye
omusaayi n'amasavu
eby'endiga n'embuzi ento,
n'eby'ensigo z'endiga ennume
ezimutambirirwa,
kubanga Mukama alina
okutambira e Bozura
n'okutta abantu abangi
mu nsi ya Edomu.
7Abantu balittibwa wamu n'embogo
n'ente ennume wamu n'endaawo,
ensi yaabwe ennyikire omusaayi,
n'enfuufu yeetabule n'amasavu.
8Kubanga waliwo olunaku
Mukama kw'aliwoolera eggwanga:
omwaka mw'alisasuliramu ebyo
abalabe bye baakola Siyooni.
9Emigga gya Edomu girijjula
ebyokya ng'olunyata.
Ettaka lyayo liribikkibwako
amanda agakoledde omuliro.
10Emisana n'ekiro
teriizikirenga,
linaanyookanga omukka
ennaku zonna.
Ensi eyo erizika emirembe n'emirembe
era teeyitibwengamu.#Laba ne Kub 14:11; 19:3
11Mu yo, kimbala ne nnamunnungu
bye birifuuka nnyinimu;
ne nnamuŋŋoona n'ebiwuugulu
bye binaagibeerangamu.
Mukama aligiteekamu okutabukatabuka
era aligifuula etekyalimu mugaso.
12Eriba tekyalimu kabaka.
Abakulembeze baayo
nabo baliba tebakyaliwo.
13Amayumba gaayo
galimeramu amaggwa;
n'ebigo byayo ebigumu bimeremu
emyeramannyo n'amatovu,
era binaabeerangamu
bibe na mmaaya.
14Ensolo enkambwe ez'omu ddungu
zinaasisinkaniranga eyo n'emisege,
era n'emizimu
ginaayitiŋŋaniranga eyo.
N'ensolo muyitakiro
enejjanga omwo,
ne yeenoonyeza ekiwummulo.
15Eyo ebiwuugulu
gye birikola ebisu byabyo
ne bibiika, ne bimaamira,
ne byalulirayo
era ebito ne bikulira eyo.
Ne bikamunye binaakuŋŋaanirangayo
ebisajja okusisinkana ebikazi.
16Munoonye mu kitabo kya Mukama,
musomemu mulabe
nga tekulibula na kimu
ku bitonde ebyo,
era tewaliba kisajja
kitalina kinnaakyo ekikazi,
kubanga Mukama ye yalagira
bibeere bwe bityo,
era Mwoyo we y'abikuŋŋaanya.
17Mukama ye abigabanyizaamu ensi eyo,
n'abisimbira empaanyi
ez'ebitundu byabyo.
Ensi eyo eriba yaabyo ennaku zonna
binaagibeerangamu ennaku zonna.