YISAAYA 33
33
Okusaba Katonda obuyambi
1Zibasanze mmwe abanyaga
sso nga temunyagibwanga,
era abalyamu bannammwe enkwe
nga temuliibwangamu nkwe.
Bwe mulimala okunyaga,
nammwe ne mulyoka munyagibwa.
Era bwe mulikomya okulyamu enkwe
nammwe ne babalyamu enkwe.
2Ayi Mukama tukwatirwe ekisa
kubanga twesize ggwe.
Tukuumenga buli lukya
ne mu kiseera ky'okubonaabona.
3Bw'osituka n'otulwanirira,
amawanga gasaasaana,
ne gadduka oluyoogaano lw'olutalo.
4Ebintu byago birigwibwako
ne bifuulibwa omunyago,
ng'obuwuka bwe bukuŋŋaanya
kye busanga kyefiiridde,
era nga n'enzige bwe zigwa
ku bye zisanga mu nnimiro.
5Mukama atenderezebwe,
kubanga ye afuga buli kintu.
Alijjuza mu Siyooni
obwenkanya n'amazima,
6era mu biseera byammwe
alireetawo obutebenkevu,
n'ataasanga abantu be,
era n'abawanga amagezi n'okumanya.
Obugagga bwabwe obukulu
buli mu kutya Mukama.
7Mulabe, abazira baabwe
bakaabira bweru;
ababaka abatumiddwa
okuteesa wabeewo emirembe,
bakaaba nnyo amaziga.
8Ezo enguudo temukyayitika.
Abaziyitamu baggwaawo,
endagaano zimenyeddwa,
ebibuga binyoomeddwa,
tewali assibwamu kitiibwa.
9Ensi tekyalimwa, erekeddwa awo.
Ebibira bya Lebanooni biwotose.
Ekiwonvu Saroni ekigimu,
kaakano kiri nga ddungu.
Mu Basani ne ku Lusozi Karumeeli
emiti giwaatudde.
Mukama alabula abalabe be
10Mukama agamba amawanga nti:
“Kaakano nja kusituka,
ndage bwe nnina
obuyinza n'amaanyi.
11Mutegeka ebitajja kubayamba,
mukola ebitajja kubagasa.
Omukka gwammwe gwe mussa,
muliro gwennyini ogulibookya.
12Muliba ng'ebiyinjayinja bye bookya
ne bafunamu cooka;
muliba ng'amaggwa agatemeddwa
ne gabengeyera mu muliro.
13Mmwe abali okumpi,
nammwe abali ewala,
muwulire bye nkoze,
mukkirize nga nnina obuyinza.”
14Aboonoonyi abali mu Siyooni
abatassaamu Katonda kitiibwa
bakankana nga batidde.
Kaakano bagamba nti:
“Ennamula ya Mukama eri ng'omuliro
ogwokera ddala ennaku zonna.
Ani ku ffe ayinza okulama
mu muliro oguli ng'ogwo?”
15Omuntu akola ebituufu
era ayogera eby'amazima;
anyoomera ddala amagoba
agava mu kunyigiriza abalala;
eyeesammulira ddala enguzi,
ateetaba mu mboozi
za kutemula bantu;
era atatunuulira bitasaana,
16oyo ye aliba awagulumivu.
Ekifo kye eky'okwerindiramu
kiribeera kyekusifu
ekigumu ddala ng'olwazi.
Aliba n'emmere gy'alya
era n'amazzi ag'okunywa.
Ebirungi ebiribaawo
17Muliraba kabaka
afugira mu kitiibwa
ensi ekoma ewala
mu bunene bwayo.
18Mulifumiitiriza ku kutya
kwe mwabanga nakwo.
Abagereka omusolo
n'abakessi be mwatyanga,
mulisanyuka okwebuuza gye badda.
19Abagwira abeepansi
abaali boogera olulimi
lwe mutayinza kutegeera,
muliba temukyabalaba.
20Mutunuulire Siyooni
ekibuga ky'Embaga zaffe.
Mulabe Yerusaalemu
bwe kiri ekitebenkevu;
kye kifo ekibeerekamu.
Kiriba nga weema gye batajjulula
ng'enkondo zaayo nnywevu
tezisimbulwa ennaku zonna,
n'emiguwa gyayo tegikutuka.
21Mukama alitulagirayo
ekitiibwa kye.
Tulibeera mu kifo eky'ensulo
n'emigga emigazi
omutaayitenga maato
na mmeeri eby'abalabe.
22Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama ye ye atuteekera amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe
era ye mulokozi waffe.
23Emiguwa gyabwe egisiba
tegikyasobola kunyweza
kikolo kya mulongooti gwabwe.
Tegikyayinza kuwanika ttanga.
Ebintu byonna eby'abalabe
birifuuka munyago gwaffe omunene,
n'abalema balyenyagira.
24Tewaliba n'omu
ku batuuze b'omu nsi yaffe
aligamba nti alwadde.
Abantu abalibeera eyo
balisonyiyibwa ebibi byabwe.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.