رفتن به محتوا

YISAAYA 32

32
Kabaka omwenkanya
1Ekiseera kirituuka,
ne wabaawo kabaka
alifugisa obwenkanya,
n'abakungu be
ne bagoberera amazima.
2Buli omu ku bo
aliba ng'ekifo eky'ekiddukiro
eky'okwewogomamu empewo
n'okuwoneramu kibuyaga.
Baliba ng'emigga gy'amazzi
mu nsi enkalu ey'eddungu.
Baliba ng'ekisiikirize
ky'olwazi olunene
mu kitundu ky'ensi ekikaze.
3Amaaso gaabwe n'amatu gaabwe
galiba maggule,
bamanye ebiruma abantu.
4Baliggwaamu obutali bugumiikiriza,
ne bakola ebiraga
bwe balumirwa abalala.
Era n'ababadde banaanaagira
balisobola okwogera obulungi.
5Omusiru aliba takyayitibwa
nti muntu wa kitiibwa,
wadde n'oyo omulyake
okuyitibwa omugabi.
6Omusiru ayogera bya busiru,
era ateesa kukola bibi.
By'akola ne by'ayogera
biba bivuma Mukama.
Ye tawa mmere bayala,
n'abalumibwa ennyonta,
tabafunira kye banaanywa.
7Omulyake muntu mubi,
era ne by'akola si birungi:
ateesa kuzikiriza baavu
ng'akozesa obulimba,
ne bwe baba nga bye basaba
bibasaanidde.
8Naye ow'omutima omugabi
alowooza ku kukola birungi,
era mu byo mw'anywerera.
Okulabula abakazi abataliiko kye bafaayo
9Mmwe abakazi abataliiko
kye mweraliikirira,
nammwe abawala
abateefiirayo,
mwenna mujje, mutege amatu,
muwulirize bye ŋŋamba.
10Mmwe abakazi, kaakano
temuliiko kye mufaayo,
naye mu bbanga lya mwaka nga gumu
mulisoberwa ne mutya,
ng'emizabbibu ku olwo
gye mukungula, tewali.
11Mukankane mmwe abakazi
abatalina kye mufaayo.
Munakuwale mmwe,
abataliiko kye mweraliikirira.
Mweyambulemu engoye zammwe,
mwesibe ebikutiya mu biwato
okulaga ennaku yammwe.
12Mwekube mu bifuba
nga mulaga okunakuwala,
olw'ennimiro ennungi
n'emizabbibu emigimu
ebisaanyiziddwawo.
13Ensi y'abantu bange
ya kumeramu maggwa
wamu ne katazzamiti.
Mukaabire amayumba n'ekibuga
omwasanyukiranga abantu.
14N'olubiri lulyabulirwa.
Ekibuga ekyali kikubyeko abantu,
kirifuuka kifulukwa.
Olusozi n'eminaala ebirengererwako
biriba matongo ennaku zonna,
omuligitira entulege,
era omulundirwa amagana.
Okuddizibwawo ebirungi
15Ekiseera kirituuka
Katonda n'atuyiwako
Mwoyo we okuva waggulu,
eddungu ne lifuuka ennimiro eŋŋimu,
obugimu bw'ennimiro eŋŋimu
ne buba nga bwa kibira.
16Buli wantu mu ggwanga,
walibaawo obwenkanya
n'okukolera ku mazima.
17N'ekiriva mu kubaawo obwenkanya,
walibaawo emirembe,
obutebenkevu n'obwesige ennaku zonna.
18Abantu ba Mukama balibeera mirembe
mu nsi yaabwe,
batebenkere mu maka gaabwe,
ne mu bifo mwe bawummulira.
19Naye omuzira gulitonnya
ne gukuba ekibira ekyo ne kigwa,
era n'ekibuga ne kisuulirwa ddala wansi
20Nga muliba n'omukisa mmwe
abasiga ku mbalama z'emigga,
ne muba n'amalundiro wonna
gye muliisiza ente n'endogoyi.