رفتن به محتوا

YISAAYA 31

31
Katonda okutaasa Yerusaalemu
1Zibasanze abo abagenda e Misiri
okunoonyaayo obuyambi,
nga beesigayo embalaasi
awamu n'amagaali,
kubanga waliyo mangi
era nga n'abaserikale
abeebagala embalaasi
balina amaanyi mangi,
ne bateesiga Mukama
Omutuukirivu wa Yisirayeli
kumusaba abayambe,
wadde okumwebuuzaako!
2Amanyi bulungi, ky'akola.
Ye ye yaleeta akabi
era takyusa ky'agambye;
wabula abonereza abakola ebibi,
era n'abo ababawagira okubikola.
3Abamisiri bantu buntu
sso si Katonda.
N'embalaasi zaabwe
zirina omubiri,
sso si mwoyo mwereere.
Mukama bw'aligolola omukono gwe,
abayambi balyesittala,
n'abayambibwa ne bagwa,
bonna wamu ne bazikirizibwa.
4Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
“Ng'empologoma bw'ewulugumira
ku nsolo yaayo gy'eyizze,
n'etetiisibwa abasumba abangi
bwe bayitibwa okugirumba
ne bwe baboggola ne baleekaana,
bwe ntyo nange Mukama Nnannyinimagye
bwe ndikka okulwanira
ku Lusozi Siyooni,
ku ntikko yaalwo.
5Ennyonyi nga bw'ebwama ku kisu
okutaasa obwana bwayo,
nange Mukama Nnannyinimagye
bwe nnaakuumanga Yerusaalemu
ne nkitaliza ne nkiwonya.
6“Mmwe Abayisirayeli, mukyuke
mudde gye ndi,
Nze gwe mwajeemera ennyo bwe mutyo.
7Ekiseera kijja kutuuka
mwenna musuule eri
ebifaananyi bye musinza,
ebya ffeeza n'ebya zaabu bye mwekolera,
ebibaleetera okwonoona.
8Olwo Abassiriya balittirwa mu lutalo
naye nga tebattibwa bantu.
Balittibwa baggweewo.
Abassiriya abo balidduka olutalo,
n'abavubuka baabwe
balifuulibwa abaddu.
9Kabaka waabwe alidduka ng'atidde,
n'abakungu be balitya nnyo
ne balekawo bbendera yaabwe.”
Mukama asinzibwa mu Siyooni
n'ayokerwa ebitambiro mu Yerusaalemu,
bw'atyo bw'agamba.