YISAAYA 30
30
Okwesiga Misiri tekugasa
1Mukama agamba nti:
“Zibasanze abaana abajeemu,
abagoberera entegeka ze sikoze,
era abakola endagaano
ey'enkolagana n'abalala
nga Nze sikkirizza,
ne bongera ekibi ku kibi.
2Bagenda basabe obuyambi e Misiri
nga tebanneebuuzizzaako.
Beesize amaanyi ga Misiri,
ne bagenda eri Kabaka waayo
okumusaba abakuume.
3Amaanyi ga kabaka w'e Misiri
kyegaliva gabafuukira ensonyi,
n'okwesiga okukuumibwa Misiri,
ne kubaleetera okuswala.
4Newaakubadde ababaka baabwe
bamaze okutuuka mu bibuga
Zowani ne Hanesi ebya Misiri,
5abantu ba Buyudaaya
balikwatibwa ensonyi,
olw'okwesiga abantu
abatayinza kubagasa
wadde okubayamba,
naye ab'okubaswaza
n'okubaleetera okunenyezebwa.”
6Kino kye kyalangibwa
nga kifa ku nsolo
ez'omu bukiikaddyo:
ababaka bayita mu nsi
ey'emitawaana n'obubenje,
erimu empologoma ensajja n'enkazi,
n'emisota egy'obusagwa,
n'egibuuka era egiwandula omuliro.
Batikka ebyobugagga byabwe ku ndogoyi
n'ebintu byabwe eby'omuwendo ennyo
ku mabango g'eŋŋamiya,
babitwalire abantu abo
abatagenda ku bagasa.
7Obuyambi bwe banaafuna e Misiri
bujja kubafa bwereere,
tebuliiko kye bugasa.
Kyenvudde mpita Misiri
Ekikulejje Rahabu ekitaluma.
Abantu abajeemu
8“Kale genda okiwandiike
ku kipande nga balaba,
era okiwandiike ne mu kitabo,
kibe obujulizi obw'olubeerera
obukakasa obujeemu bw'abantu bano.
9Bulijjo abantu bano bajeemu,
abakolera ku bulimba.
Bulijjo tebakkiriza
kugondera Mateeka ga Mukama.
10Bagamba abalabikirwa
era n'abalanzi
nti: ‘Mukomye okulabikirwa
Temulanga bituufu bye mulaba.
Temutubuulira bya mazima
wabula ebyo ebitunyumira.
Mulange ebitulimba.
11Temutwekiika mu maaso,
kuziba kkubo lyaffe.
Mulekere awo okutulaga
Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ”
12Omutuukirivu wa Yisirayeli
kyava agamba nti:
“Nga bwe munyoomye ebyange
ne musiima okujooga
n'okukola eby'effujjo,
ne mweyinula ebyo,
13muzzizza musango
ogubafudde ekisenge ekigulumivu
ekizzeemu olwatika.
Mujja kubomoka mugwe mangwago.
14Mulyatika ng'ekintu eky'ebbumba
ne mumenyekamenyeka,
obutasigalawo katundu ka luggyo
kayinza kusena muliro mu kyoto,
wadde amazzi mu kidiba.”
15Mukama Afugabyonna
Omutuukirivu wa Yisirayeli
kyava agamba nti:
“Mudde gye ndi, muweere,
olwo Nze ndyoke mbayambe.
Mutereere, munneesige,
mulyoke mube ba maanyi.”
Naye mmwe mugaanye!
16Mugamba nti: “Nedda!
Tujja kwebagala embalaasi
tudduke abalabe baffe.”
Kituufu mujja kudduka.
Embalaasi zammwe mulowooza
nga zidduka nnyo.
Naye ez'abo ababawondera
ze zisinga okuba n'embiro.
17Omu bw'alibaboggolera,
mmwe mulidduka lukumi.
Bwe muliboggolerwa abataano,
olwo mwenna mulidduka,
ne musigala kinnoomu
ng'omulongooti oguli
ku ntikko y'olusozi,
ne bbendera eri ku kasozi.
18Wabula Ye Mukama alinze
ng'ayagala abakwatirwe ekisa.
Yeetegese okubasaasira,
kubanga Mukama Katonda
bulijjo by'akola byonna bituufu.
Beesiimye wamma
bonna abamwesiga.
Mukama aliwa abantu be omukisa
19Mmwe abantu ba Siyooni
ababeera mu Yerusaalemu,
temukyaddamu kukaaba maziga.
Mukama alibakwatirwa ekisa:
alibawa kye mumusaba
oluliwulira nga mukaaba.
20Newaakubadde Mukama alibaleka
okulaba ennaku n'okubonaabona,
kyokka ye yennyini alibayigiriza.
Era Ye, Omuyigiriza wammwe,
mulimulaba, talibeekweka.
21Bwe munaakyamiranga ku mukono
ogwa ddyo oba ku gwa kkono,
munaawuliranga eddoboozi lye
eribava emabega nga ligamba nti:
“Lino lye kkubo, lye muba mutambuliramu.”
22Olwo mulizikiriza ebifaananyi ebyole
ebibikkiddwako ffeeza,
n'ebifaananyi ebiweese ebya zaabu,
ne mubyeggyako ne mubisuula
ng'ebintu ebitali birongoofu,
nga mugamba nti: “Mugende butadda!”
23Olwo buli lwe munaasiganga ensigo zammwe,
Mukama anaatonnyesanga enkuba, zikule,
abawe okukungula ebirime
ebigimu era eby'ekyengera ekingi.
N'amagana gammwe ganaaliiranga
mu malundiro amagazi.
24Era ente zammwe n'endogoyi
ze mulimisa mu nnimiro,
zinaalyanga birimu omunnyo
nga bimaze na kuwewebwa
ne mutaba bisusunku.
25Ebigo by'abalabe bammwe bwe birigwa
era ne battibwa bangi,
amazzi mangi amalungi galikulukuta
nga gava mu nsozi empanvu,
ne mu busozi obugulumivu.
26Ku lunaku Mukama lw'alisibirako
ebinuubule n'ebiwundu by'abantu be
n'abawonya obulumi bwabwe,
omwezi gulyaka nga njuba,
n'ekitangaala ky'enjuba
kiryeyongera emirundi musanvu:
eky'omu lunaku olumu,
kibe ng'eky'ennaku omusanvu.
Katonda okubonereza Assiriya
27Obuyinza bwa Mukama n'ekitiibwa kye
birengererwa wala,
omuliro n'omukka ne biraga
obusungu bwe obwokya.
Ebigambo by'ayogera
biba muliro ogwaka.
28Akulembezaamu kibuyaga
w'omukka gwe gw'assa,
ali ng'omugga ogwanjaala
amazzi ne gakoma mu bulago,
n'ayerawo buli ggwanga ly'alumbye
n'alizikiririza wamu
n'entegeka zaalyo eziwabya.
29Naye mmwe muliyimba oluyimba,
ng'oluyimbibwa mu kiro ky'embaga entukuvu.
Muliba basanyufu ng'abo
abatambulira ku luyimba lw'endere,
nga bambuka Olusozi lwa Mukama,
Olwazi Yisirayeli mwe yeewogoma.
30Mukama aliwuliza bonna
eddoboozi lye eryekitiibwa,
era aliraga amaanyi g'obusungu bwe.
Walibaawo ennimi ez'omuliro
ezookya buli kye zisanga
ebimyanso by'omu bire n'okubwatuka
ne kibuyaga ne nkuba
omuli omuzira.
31Abassiriya balitya
bwe baliwulira eddoboozi lya Mukama
ng'ababonereza n'amaanyi
ag'obusungu bwe.
32Mukama aliba abakuba
n'emiggo okubabonereza,
nga bo abantu be
bacacanca na nnyimba
ku bitaasa n'ennanga.
Mukama yennyini ye alirwanyisa
abalabe abo Abassiriya,
ng'akozesa ebyokulwanyisa ebitiisa.
33Ettambiro eddene Tofeti
lyategekebwa kuva dda.
Lya kyoto ekiwanvu ekinene
nga mulimu n'enku nnyingi.
Mwe mulyokerwa kabaka w'Assiriya.
Mukama alifuuwa omukka
oguli ng'obuganga bw'ebibiriiti,
ne gukikoleezaako omuliro.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.