YISAAYA 29
29
Ebirituuka ku Ariyeeli, ye Yerusaalemu
1Katonda agamba nti:
“Zikusanze ggwe, Ariyeeli, Yerusaalemu
ekibuga Dawudi mwe yakuba
ensiisira ye.
Mugatte omwaka ku mwaka,
n'embaga enkulu muleke zibeewo
nga bwe ziddiriŋŋana,
2olwo mbonereze Ariyeeli.
Walibaawo okukaaba n'okunakuwala,
era ekibuga ekyo
kiriba ng'alutaari yange yennyini.
3Ndikirumba ku buli ludda,
ne nkisiisirako,
era ne nkizimbako ekigo,
ne nkizingiza enjuyi zonna.
4Yerusaalemu, oliba ng'omuzimu
ogufuba okwogera
nga gusinziira wansi mu ttaka,
eddoboozi lyo nga lya kaama,
okuva eyo mu nfuufu.
5“Naye ebbiina ly'abalabe bo
lirifuumuulwa ng'enfuufu,
n'ebibinja byabwe eby'entiisa
birifuumuuka ng'ebisusunku,
ate mu kaseera mpawekaaga.
6Nze Mukama Nnannyinimagye
ndikutaasa nga nkozesa okubwatuka
n'okukankana kw'ensi,
ne kibuyaga akunta,
n'ennimi ez'omuliro.
7Amagye g'amawanga gonna
agalwanyisa ekibuga
ky'alutaari ya Katonda,
ne galumba ebigo byakyo ebigumu,
ne gakiteganya bulala,
galivaawo ng'ekirooto,
oba ng'ebyefaanaanyirizibwa mu kiro.
8Ng'omuyala bw'aloota ng'alya,
n'azuukuka ng'enjala emuluma;
oba ng'omuyonta bw'aloota ng'anywa,
kyokka w'azuukukira mu tulo
ng'ennyonta emuli bubi, azirika,
ng'emukazizza n'emimiro,
n'amagye gonna agakuŋŋaana
okulwanyisa Olusozi Siyooni
nago bwe galiba bwe gatyo.”
Okulabulwa okutafiibwako
9Mudde awo mwewuunye!
Mwesiruwaze, muzibe amaaso!
Mutamiire, nga temunywedde mwenge!
Mutagatte, nga temukombye ku kitamiiza!
10Kubanga Mukama abataddemu
omwoyo oguleeta otulo otungi
era abazibye amaaso, mmwe abalanzi,
asibye kantuntunu ku mmwe;
nammwe abalaguzi
emitwe gyammwe agibisseeko.#Laba ne Bar 11:8
11Amakulu gonna ag'okulabikirwa,
gafuuse ng'ekitabo
ekisibiddwako envumbo.
Bwe kitwalirwa amanyi okusoma
ne bamusaba nti: “Soma kino,”
abaddamu nti: “Sisobola,
kubanga kisibiddwako envumbo.”
12Bwe bakiwa ataayiga kusoma
ne bamusaba nti: “Soma kino,”
abaddamu nti: “Ssaayigirizibwa kusoma.”
13Awo Mukama n'agamba nti:
“Abantu bano bansemberera
ne banzisaamu ekitiibwa kya ku mumwa,
nga kikoma mu bigambo bugambo,
naye emitima gyabwe tegindiiko.
N'okwandibadde okunsinza,
bakuuma bulombolombo
obubalagirwa abantu.#Laba ne Mat 15:8-9; Mak 7:6-7
14Kale ndikola mu bantu bano
ekyamagero kye balyewuunya.
Amagezi g'abagezi mu bo, galibula,
n'okutegeera kw'abakungu baabwe,
kulikwekebwa.”#Laba ne 1 Kor 1:19
Okusuubira ebirungi ebiri mu maaso
15Zibasanze abo abeerimba
mbu bakweka Mukama bye bateesa,
era abalina bye bakolera mu kizikiza.
Bagamba nti: “Ani atulaba?
Ne bye tukola ani abimanyi?”
16Muvuunikira ddala ebintu!
Omubumbi ageraageranyizibwa n'ebbumba?
Ekintu omuntu ky'akoze,
kiyinza okumugamba nti: “Tewankola?”
Oba ekintu ekibumbibwa,
kiyinza okugamba akibumba
nti tategeera?#Laba ne Yis 45:9; Bar 9:20
17Ng'enjogera bw'egamba,
akaseera kabulayo katono nnyo,
ekibira ekikwafu eky'e Lebanooni
kifuulibwe ennimiro eŋŋimu,
n'ennimiro eŋŋimu eddemu okuba ekibira.
18Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
kiggala aliwulira ebimusomerwa mu kitabo,
n'amaaso ga muzibe
agabadde mu kizikiza,
galitunula ne galaba.
19Abantu abeetoowaze balyeyongera
okusanyukira mu Mukama,
n'abaavu balyesiimira
mu Mutuukirivu wa Yisirayeli,
20kubanga omulabe ow'entiisa
alidibizibwa,
n'omunyoomi alikomezebwa;
n'abo bonna abatafa ku bya butuukirivu
balizikirira.
21Katonda alizikiriza abo
abawaayiriza bannaabwe
emisango gye batazzizza,
n'abo abazibira eyagizza
aleme kubonerezebwa,
era ne balemesa omutuufu
okusalirwa amazima.
22Mukama eyanunula Aburaamu
kyava ayogera ku nnyumba ya Yakobo,
nti: “Aba Yakobo tebaliddamu kuswazibwa,
n'amaaso gaabwe tegaliddamu kusiiwuuka.
23Bwe muliraba ku baana
be ndibawa mmwe,
mulitegeera bwe ndi
Omutuukirivu wa Yakobo.
Mulinzisaamu ekitiibwa
Nze Katonda wa Yisirayeli.
24N'abo abasirusiru
balifuuka abategeevu,
n'abeemulugunya
balikkiriza okuyigirizibwa.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.