رفتن به محتوا

YISAAYA 28

28
Okulanga ebirituuka ku Samariya
1Obwakabaka bwa Yisirayeli
obw'abeekuza era abatamiivu,
nga zibusanze!
Ekitiibwa kyabwe kiseebengeredde.
Kiri ng'engule ez'ebimuli ebiwotose,
eziri ku mitwe gy'abakulembeze baakyo
abeemalidde mu kunywa omwenge.
2Ddala Mukama alinawo
ow'amaanyi era omuzira,
anaatera okubalumba.
Oyo ali nga kibuyaga alimu omuzira
n'embuyaga ezikiriza,
ali ng'amazzi amangi ag'amaanyi,
agajja ne ganjaala ennyo.
Bw'atyo alitalaaga ensi n'agizikiriza.
3Okwekuza kw'abakulembeze abatamiivu
kulirinnyirirwa n'ebigere.
4Ekitiibwa ky'abakulembeze abo
abatamiivu, ekiseebengerera,
kiriggwaawo ng'ebibala by'emitiini
ebisooka okwengera
ng'ekyeya tekinnatuuka,
ebinogebwa ne biriibwa
amangu ddala nga byakengera.
5Ekiseera kijja kutuuka
Mukama Nnannyinimagye
abe engule eyeekitiibwa
era ennungi amakula,
ey'abantu be abaliwonawo.
6Aliwa omwoyo ogw'obwenkanya
abalamuzi abasala emisango,
era aliwa amaanyi abaserikale
abataasa emiryango gy'ekibuga,
okukitaasa mu lutalo.
Bakabona n'abalanzi abatamiivu
7Bakabona n'abalanzi nabo
boonooneddwa omwenge:
ebitamiiza bibawabizza,
omwenge gubasaanyizzaawo.
Batambula batagatta olw'obutamiivu,
abalanzi ne batategeera
bibalagibwa mu kulabikirwa,
ne bakabona abatamidde
ne batasala bulungi nsonga
eziba zibaleeteddwa.
8Emmeeza eziri we batudde
zonna zijjudde bisesemye,
tewakyali kifo kiyonjo.
9Banneemulugunyiza
nga bagamba nti:
“Oyo ayigiriza ani?
Era ani gw'ajja okubuulirira?
Mpozzi asomese abo abato
abaakava ku mabeere!
10Kubanga ayigiriza
kiragiro ku kiragiro,
lunyiriri ku lunyiriri.
Wano n'akuwaayo katono,
era ne wali, katono.”
11Oba tebaagala kuwulira bye ŋŋamba,
Mukama alikozesa abagwira
aboogera olulimi olulala,
n'abategeeza ky'ayagala.#Laba ne 1 Kor 14:21
12Yabagamba nti abo abakooye
babawenga ekiwummulo,
naye ne bagaana okuwulira.
13Mukama kyaliva abayigiriza
kiragiro ku kiragiro,
lunyiriri ku lunyiriri,
wano n'abawaayo katono,
era ne wali katono,
balyoke bagende bagwe kyabugazi
bamenyeke, bategebwe, bakwasibwe.
Ebirituuka ku bawa amagezi amabi
14Kale mmwe abanyoomi
abafuga abantu bano
ab'omu Yerusaalemu,
muwulire, Mukama ky'agamba nti:
15“Nga bwe mwewaanye
nti mukoze endagaano n'olumbe,
mutegeeraganye n'amagombe,
era nti ekikangabwa ekyanjaala
bwe kiriyita mu nsi
tekiribatuukako mmwe,
kubanga eby'obulimba
bye mufudde ekiddukiro kyammwe
era mwekwese wansi w'obulimba!”
16Mukama Afugabyonna
kyava agamba nti: “Mulabe,
nteeka ejjinja mu Siyooni,
ejjinja erimaze okugezesebwa,
libe ejjinja ery'omu nsonda
ery'omuwendo ennyo,
erinywerezeddwa ddala wansi.
Oyo eyeesiga ejjinja eryo
taterebuka.#Laba ne Zab 118:22-23; Bar 9:33; 10:11; 1 Peet 2:6
17Obwenkanya bwe ndifuula
olukoba olugera,
n'obutuufu bwe buliba
omuguwa ogutereeza.”
Amayinja ag'omuzira galyerawo
obulimba bwe mwewogomamu,
n'amazzi galyanjaala ne gazikiriza
ekifo kye mwekwekamu.
18Endagaano yammwe
gye mwakola n'okufa erimenyebwawo,
n'okutegeeragana kwammwe
kwe mwategeeragana n'amagombe, kulikoma.
Ekikangabwa ekiryanjaala
bwe kiriyita mu nsi,
kirireka kibalinnyiridde wansi
19Buli lwe kinaayitanga mu nsi,
kinaabalinnyiriranga buli lukya,
ka bube misana, ka bube kiro.
Era buli bubaka obuva eri Katonda,
bunaabanga bwa ntiisa nsa.
20Muliba ng'omuntu
asula ku kitanda ekimpi
ky'atayinza kwegolorerako,
nga n'ekyokwebikka kyakwo
kifunda, tekimubunya.
21Mukama alisituka n'alwana,
nga bwe yalwana ku Lusozi Peraziimu.
Alisunguwala nga bwe yasunguwala
mu kiwonvu kye Gibiyoni,
alyoke akole ky'ayagala okukola,
akole omulimu gwe ogwewuunyisa
era ebikolwa bye eby'amagero.#Laba ne Yos 10:10-12; 2 Sam 5:20; 1 Byom 14:11
22Kale okulabula temukunyooma,
enjegere ezibasibye
zireme kunywezebwa,
kubanga mpulidde nga Mukama
Nnannyinimagye Afugabyonna,
amaliridde okusaanyaawo ensi eno.
Amagezi ga Katonda
23Mutege amatu muwulire kye ŋŋamba,
musseeyo omwoyo ku kye mbategeeza.
24Omulimi bw'alima ennimiro ze
nga yeetegekera okusiga,
tazitegeka lutata.
Obudde bwonna tabumala mu kukabala,
na kukuba mavuunike, na kwanjala.
25Bw'amala okuttaanya ettaka lyonna,
asigamu ensigo ze z'ayagala:
ng'ez'ebijanjaalo, soya, oba kasooli.
Asiga eŋŋaano ne bbaale
ng'abitegeka mu nnyiriri,
ne ku nsalosalo y'ennimiro ze
n'asimbako ebirime ebirala.
26Amanya okukola omulimu gwe,
kubanga Katonda we amuyigiriza.
27Ebijanjaalo tebiwuulibwa
na musekuzo muzito,
kye kimu era ne kawo.
Naye bakozesa muggo
ogutaabisekulesekule.
28N'eŋŋaano ey'emigaati
tagiwuula ng'agibetenta,
wabula agyegendereza,
empeke ne zisigala nga nnamba.
29Era ago gonna amagezi
gava wa Mukama Nnannyinimagye,
omuwi w'amagezi ow'ekitalo
ategeka eby'amagezi ebyereere
era bulijjo ebituukirira.