YISAAYA 27
27
1Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikozesa ekitala kye ekinene eky'amaanyi era eky'obwogi, okubonereza Lukwata ogusota ogwenyogootola, Lukwata ogusota oguzinga amakata, era alitta gugoonya ogubeera mu nnyanja.#Laba ne Yob 41:1; Zab 74:14; 104:26
2Ku lunaku olwo, Mukama aligamba nti: “Mulabe ennimiro yange ennungi ey'emizabbibu. Mugiyimbire. 3Ngikuuma era ngifukirira amazzi buli kaseera. Ngirabirira emisana n'ekiro, waleme kubaawo kintu na kimu kigyonoona. 4Ndekedde awo okugisunguwalira. Singa gabadde maggwa na katazzamiti nga bye nnina okulwanyisa, nandibyokedde wamu byonna. 5Naye oba ng'abalabe b'abantu bange baagala okubakuuma, batabagane nange. Weewaawo, batabagane nange.”
6Mu biseera ebirijja, Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo, balisimba emirandira ng'omuti, balimulisa ne baanya, era balijjuza ensi yonna ebibala.
7Yisirayeli, Mukama tagibonerezza nnyo na bukambwe, nga bw'abonerezza abalabe baayo, era yo tefiiriddwa bantu baayo bangi. 8Mukama yabonereza abantu be ng'abawaŋŋangusa. Yabakuŋŋunsa ne kibuyaga we omukambwe, ava ebuvanjuba. 9Abayisirayeli bwe balimenyaamenya alutaari za balubaale, amayinja gaazo ne bagasekulasekula ng'ennoni, alutaari ezo ne zitaddayo kwoterezebwako bubaane, era ne watasigalawo kabonero ka Asera, lubaale omukazi, olwo lwe balisonyiyibwa ebibi byabwe.
10Ekibuga ekyabangako ebigo ebigumu
kaakano kifuuse kifulukwa,
matongo agalekeddwawo ng'eddungu.
Lifuuse ddundiro,
amagana mwe gawummulira,
ne geeriira ku makoola g'emiti.
11Amatabi g'emiti gyamu
bwe galiwotoka, galiwogolwa,
abakazi ne bagatyaba enku.
Abantu nga bwe batalina magezi,
tebalisaasirwa yabatonda,
wadde okukwatirwa ekisa.
12Olunaku olwo bwe lulituuka,
Mukama alikuŋŋaanya
abantu be Abayisirayeli
okuva ku Mugga Ewufuraate,
okutuuka ku kagga
ak'oku nsalo n'e Misiri,
ng'omuntu bw'akuŋŋunta eŋŋaano
n'agyawula mu bisusunku.
13Olunaku olwo bwe lulituuka,
ekkondeere eddene lirifuuyibwa
okuyita Abayisirayeli bonna
ababadde banaatera okufiira
mu nsi ya Assiriya,
n'ababadde ababoole mu Misiri,
ne bajja basinziza Mukama
ku lusozi olutukuvu mu Yerusaalemu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.