رفتن به محتوا

YISAAYA 26

26
Mukama aliwa abantu be obuwanguzi
1Olunaku lulituuka, oluyimba luno
ne luyimbirwa mu Buyudaaya nti:
“Tulina ekibuga eky'amaanyi.
Katonda yennyini ye yakiteekako
ebigo n'enkomera ebikitaasa.
2Mugguleewo emiryango gyakyo
ab'eggwanga eryesigwa,
era abakola ebituufu, bayingire.
3Ayi Mukama, okuuma
mu mirembe emijjuvu
oyo asuubira mu ggwe,
kubanga akwesiga.
4Mwesigenga Mukama ennaku zonna
kubanga Mukama lwe lwazi
omwewogomwa emirembe gyonna.
5Atoowazizza abo abaali beegulumiza.
Azikirizza ekibuga kyabwe ekigumu,
akissizza wansi ku ttaka,
ne kituukira ddala mu nfuufu.
6Kaakano kirinnyirirwa
bigere bya baavu
n'eby'abali mu bwetaavu.
7“Ekkubo ly'abeesimbu ggolokofu,
era ggwe ayi Mukama
nnannyini bugolokofu,
ggwe olibaluŋŋamya.
8Weewaawo ayi Mukama,
tugoberera ky'oyagala,
ne tusuubira mu ggwe.
Era mu kukujjukira
mwe tufunira bye twegomba.
9Omutima gwange gukwegomba ekiro,
omwoyo gwange ne gwewaayo okukunoonya,
kubanga bw'osala emisango mu nsi
abatuuze baamu lwe bayiga obwenkanya.
10Ababi ne bwe bakolerwa eby'ekisa,
era tebayiga kukola bituufu.
Ne mu nsi y'abantu abeesimbu
era bakoleramu ebikyamu,
ne batalaba bukulu bwa Mukama.
11Ayi Mukama, omukono gwo
ogugolola okubabonereza,
naye tebalaba.
Leka baswale era baboneebone.
Bawe ekibonerezo
ky'otegekedde abalabe bo.
Balage bw'olumirwa abantu bo.#Laba ne Beb 10:27
12“Ayi Mukama, ggwe otuteerawo emirembe
kubanga ne bye tukola,
ggwe obisobozesa okulama.
13Ayi Mukama Katonda waffe,
tufugiddwako n'abalala abatali ggwe,
naye ggwe wekka,
ggwe tumanyi ng'Omufuzi waffe
ow'oku ntikko.
14Abo kaakano bafudde,
tebakyali balamu;
bafuuse bagenzi
era tebakyadda,
kubanga wababonereza
n'obazikiriza,
era tewaliba abajjukira.
15Ogaziyizza Eggwanga lyaffe,
ayi Mukama oligaziyizza;
ogaziyizza ensalo zaalyo zonna,
ekyo ne kikwongerako
okuweebwa ekitiibwa.
16Ayi Mukama, abantu bo
bwe baalaba ennaku,
ne bajja gy'oli;
bwe wababonereza,
ne bakuwanjagira.
17Ng'omukazi ali olubuto
bw'alumwa ebisa n'akaaba
ng'ebiseera bye eby'okuzaala bituuse,
naffe bwe tutyo, ayi Mukama,
bwe twabanga mu maaso go.
18Twali lubuto, ne tulumwa okuzaala,
naye tewali kye twazaala.
Tetulina kya mugaso kye tukoledde nsi,
n'abatuuze baamu
tetubayigirizza kituufu.
19“Abantu bo abafudde
baliddamu obulamu,
abafu abo balizuukira.
Bonna abeebase mu nfuufu,
balizuukuka ne bayimba olw'essanyu.
Ng'amatondo g'omusulo gw'oku makya
bwe gaweweeza ensi,
ne Mukama bw'atyo
bw'alizzaamu abo obulamu
abaafa edda.”
Okusalirwa omusango n'okuzzibwa obuggya
20Mujje mmwe abantu bange
muyingire mu bisenge byammwe,
mweggalire okumala akaseera,
okutuusa obusungu bwa Katonda
lwe buliggwaawo.
21Kubanga Mukama wuuyo
avudde mu ggulu gy'abeera
n'ajja okubonereza abantu ku nsi,
olw'ebibi byabwe.
Obutemu obwakolebwa ku nsi mu nkukutu
bulimanyibwa mu lwatu.
Ettaka teriryeyongera kukweka
abo abattibwa.