رفتن به محتوا

YISAAYA 25

25
Oluyimba olw'okutendereza Mukama
1Ayi Mukama, ggwe Katonda wange.
Nnaakugulumizanga,
nnaatenderezanga erinnya lyo,
kubanga okoze ebyamagero.
Otuukirizza n'obwesigwa n'amazima
ebyo bye wateesa edda.
2Kubanga ekibuga okifudde matongo.
Omenyewo ebigo byakyo ebigumu.
Embiri z'abalabe baffe
tebikyali bibuga
era teziriddamu kuzimbibwa.
3Kale abantu ab'amaanyi
banaakussangamu ekitiibwa,
n'ebibuga by'amawanga amakambwe
tebiiremenga kukutya.
4Kubanga oli kigo ekigumu
abantu abanaku n'abaavu
mwe bafunira ekiddukiro,
ne bawonera omwo kibuyaga;
ng'era kye kisiikirize
mwe bawonera ebbugumu,
kubanga obusungu bw'abakambwe
buli ng'enkuba ekuba ku bisenge
ng'erimu ne kibuyaga,
5era buli ng'ebbugumu
mu nsi enkalu.
Naye ggwe, ayi Mukama,
osirisizza abalabe baffe.
Okkakkanya okuleekaana kw'abakambwe
ng'ekire bwe kiweweeza
ebbugumu ery'omu ttuntu.
Mukama ategeka ekijjulo
6Ku Lusozi luno Siyooni
Mukama Nnannyinimagye
alifumbira amawanga gonna ekijjulo
eky'ebyassava omuli ebirungo,
era eky'omwenge omuka omuwoomu.
7Alizikiririza ku lusozi luno
ennaku esaanikidde abantu,
era ebuutikidde amawanga gonna.
8Mukama Afugabyonna,
alizikiriza okufa kuggweewo,
obutaddawo ennaku zonna.
Alisangula amaziga mu maaso gonna,
era alimalawo obuswavu bw'abantu be
bwe baalina mu nsi yonna.
Mukama yennyini ye ayogedde.#Laba ne 1 Kor 15:54; Kub 7:17; 21:4
9Kale bwe kirituukirira,
baligamba nti: “Mulabe,
Katonda waffe wuuno.
Tubadde tumulindirira,
era anaatuwonya.
Ye ye Mukama.
Tubadde tumulindirira,
era kaakano tusanyuka,
era tujaguza,
kubanga atuwonyezza.”
10Mukama alikuuma Olusozi luno Siyooni, naye Abamowaabu balirinnyirirwa ng'ebisubi bwe birinnyirirwa ku ntuumu y'obusa okukolamu ebigimisa.#Laba ne Yis 15:1–16:14; Yer 48:1-47; Ezek 25:8-11; Am 2:1-3 Zef 2:8-11 11Balyanjuluza emikono gyabwe, ng'omuntu awuga bw'agyanjuluza, kyokka Mukama alibamalamu olwetumbu lwabwe, emikono gyabwe ne gibulwa ageeyamba. 12Alizikiriza ebigo byabwe ebigumu era eby'ebisenge ebigulumivu, abisuule wansi ku ttaka okutuukira ddala mu nfuufu.