رفتن به محتوا

YISAAYA 24

24
Mukama alisalira ensi omusango
1Laba, Mukama ensi
aligimalamu buli kintu,
aligizikiriza n'agifuula matongo.
Aligivuunika n'asaasaanya
abagibeeramu bonna.
2Ekiseera kirituuka
abantu bonna ne bayisibwa bumu:
abantu baabulijjo ne bakabona,
abaddu ne bakama baabwe,
abazaana ne bagole baabwe,
abaguzi n'abatunzi,
abawola n'abo abeewola,
asasula era n'oyo asasulwa.
3Ensi eriggyibwamu buli kintu,
n'eba ng'enyaguluddwa.
Ekyo Mukama ye akyogedde,
tekirirema kutuukirira.
4Era ensi yonna ekala,
ebigiriko ne biwotoka.
Ensi eggwaamu amaanyi,
buli kyayo ne kiyongobera.
Abantu abeekitiibwa
nabo balitoowazibwa.
5Ensi abantu bagyonoonye
olw'okumenya amateeka ga Mukama
n'olw'okusobya by'alagira,
ne bateekako n'okumenya
endagaano ye eteri ya kuggwaawo.
6Ensi kyevudde ekolimirwa,
n'abatuuze baamu
ne basingibwa omusango
era bangi ne bazikirizibwa.
Abasigalawo be batono.
7Emizabbibu egisogolwa giwotose,
omwenge gwagyo ne gukendeera.
Abaali basanyuka bonna,
kati bali mu kuwuubaala.
8Abaali bakola ebinyumu
nga bakubiramu ebivuga
ng'eno bwe baleekaana,
ebyo tebakyabikola.
9Baakomya okunywa omwenge
nga bayimba n'ennyimba.
Abaali bagunywa batamiire,
kati gubakaayirira.
10Ekibuga kikyankalanye,
buli omu yeggalira mumwe,
abayingira tabakkiriza.
11Abali mu nguudo baleekaana
kubanga tebalina mwenge.
Ebinyumu tebikyakolebwa,
essanyu lyonna ligenze.
12Ekibuga kisigadde matongo.
Emiryango gyakyo bagikubye,
balese egyo bagimenye.
13Bwe kityo bwe kiriba mu nsi,
mu buli ggwanga.
Kiriba nga bwe kibeera
amakungula nga gawedde:
ng'emizayiti ginogeddwa,
nga n'emizabbibu tekukyali.
14Abo abaliba bawonyeewo,
baliyimusa amaloboozi
ne bayimba n'essanyu eringi,
ne batenda ekitiibwa kya Mukama
nga ku ludda oluliko ennyanja
gye basinziira.
15N'abebuvanjuba balimutendereza.
Abo ababeera okumpi n'ennyanja
baligulumiza Mukama,
Katonda wa Yisirayeli.
16Tuliwulira ennyimba
eziva ku nkomerero y'ensi
nga zitenda Omutuukirivu.
Kyokka nze ŋŋamba nti:
Nzigwerera, nzigwerera,
nga zinsanze nze!
Kubanga abalyamu enkwe
beeyongera okulyamu enkwe,
era enkwe zaabwe
zeeyongera bweyongezi!
17Ggwe omutuuze w'omu nsi
entiisa era n'obunnya
wamu n'omutego
biteeze ggwe.
18Ebyo nga bimaze okubaawo
olwo buli alidduka awone entiisa,
aligwa ate mu bunnya.
Oyo asituka n'avaayo mu bunnya,
alikwatibwa olwo mu mutego.
Enkuba erifukumuka okuva mu bire,
emisingi gy'ensi ne ginyeenyezebwa.
19Ensi eryetemeramu ddala,
era erimerengukira ddala.
Ensi erinyeenyezebwa nnyo.
20Ensi eritagatta ng'omutamiivu,
eriyuuguumizibwa ng'ensiisira,
erizitoowererwa ebibi byayo,
erigwa n'eteddayo kuyimuka.
21Ekiseera kijja kutuuka,
Mukama abonereze
ab'obuyinza abali eyo mu bbanga,
n'abafuzi abali ku nsi.
22Ab'obuyinza abo n'abafuzi,
balikuŋŋaanyizibwa wamu
ng'abasibe abateekeddwa mu bunnya.
Balisibirwa mu kkomera,
era balibonerezebwa
nga wayiseewo ennaku eziwera.
23Olwo omwezi gulikwata ekizikiza
n'enjuba erigaana okwaka,
kubanga Mukama Nnannyinimagye
ye aliba kabaka
ku Lusozi Siyooni,
ne mu Yerusaalemu kyonna,
ne mu maaso g'abakulembeze
ekitiibwa kye kiryeyoleka.