YISAAYA 23
23
Ebyalangibwa ku Tiiro ne Sidoni
1Bino bye byalangibwa ku Tiiro:
Mukube ebiwoobe mmwe
emmeeri z'e Tarusiisi!
Ekibuga kyammwe Tiiro kizikiridde:
tewakyali mayumba na mwalo.
Amawulire ago gabatuuseeko,
nga muva mu nsi y'e Kittimu.#Laba ne Ezek 26:1–28:19; Yol 3:4-8; Am 1:9-10; Zek 9:1-4; Mat 11:21-22; Luk 10:13-14
2Musiriikirire olw'ennaku mmwe
abatuuze b'oku lubalama lw'ennyanja,
mmwe abasuubuzi b'e Sidoni
ekigaggawazibwa abantu
abawunguka ennyanja.
3Eŋŋaano y'e Misiri
era ekibala kya Kiyira
gye bayisa ku nnyanja,
y'ekireetera amagoba
nga kisuubulagana n'amawanga.
4Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni,
ekibuga ky'ennyanja ekigumu,
kubanga weegaanye nti:
“Sirumwanga kuzaala
era sizaalanga ku mwana.
Siyonsanga mwana wa bulenzi,
wadde okwola ow'obuwala.”
5Amawulire agafa ku Tiiro
bwe galituuka e Misiri,
abaayo balinakuwala nnyo.
6Mukube ebiwoobe mmwe
abatuuze b'oku kizinga,
mugende e Tarusiisi.
7Kino kye kibuga kyammwe
ekyabasanyusanga,
ekyazimbibwa mu mirembe egy'edda?
Kye kyaweerezanga abatuuze baakyo
bagende basenge mu bifo eby'ewala?
8Ani yategeka okukola ebyo ku Tiiro
ekibuga ekisuza bakabaka,
nga n'abasuubuzi baamu
baakitiibwa mu nsi?
9Mukama Nnannyinimagye
ye yakitegeka
amalewo okwekuza
okuli mu bitiibwa byonna,
era alage bw'anyooma
abeebitiibwa bonna ku nsi.
10Mwanjaale mu nsi yammwe
ng'Omugga Kiyira
mmwe abatuuze b'e Tarusiisi.
Tewakyaliwo abaziyiza.
11Mukama agolodde omukono gwe ku nnyanja,
n'ayuuguumya obwakabaka.
Alagidde ebigo ebigumu
eby'Ekibuga Kanaani
bizikirizibwe.
12Kaakano agambye nti:
“Ggwe Ekibuga Sidoni
okusanyuka kwo kukomye,
n'abantu bo banyigirizibwa.
Ne bwe banaddukira e Kittimu,
nayo tebalifuna kiwummulo.”
13Baali Bakaludaaya
sso si Bassiriya
abafuula Tiiro
eky'ensolo ez'omu nsiko.
Baakizimbako eminaala okukizingiza,
ne bamenya amayumba gaamu,
ne bazikiriza byonna ebirimu.
14Mukube ebiwoobe mmwe
emmeeri z'e Tarusiisi,
kubanga ekibuga kyammwe ekigumu
kizikiriziddwa.
15Ekiseera kijja kutuuka,
Tiiro kyerabirwe
okumala emyaka nsanvu,
ng'egya kabaka omu gy'awangaala.
Ensanvu egyo bwe giriggwaako,
ebiribeera mu Tiiro,
biriba ng'ebiri mu luyimba
oluyimbibwa ku malaaya:
16“Kwata ennanga yo
oyiteeyite mu kibuga
ng'oli nayo,
ggwe malaaya eyeerabirwa,
ogikube bulungi
nga bw'oyimba
oluyimba oluseeneekerevu,
balyoke bakujjukire.”
17Emyaka ensanvu bwe giriggwaako,
Mukama alireka Tiiro
kidde ku bye kyakolanga edda.
Kiriddamu okusuubulagana
n'obwakabaka bwonna mu nsi,
yonna gye busaasaanidde.
18Bye kirisuubula byonna
era n'amagoba,
biriwongerwa Mukama.
Tekiribyetuumako,
wadde okubyeterekera mu mawanika,
naye abasinza Mukama
be balibikozesa okugula
emmere gye balya ebamala,
n'engoye ennungi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.