YISAAYA 22
22
Ebyalangibwa ku Yerusaalemu
1Bino bye byalangibwa
nga bifa ku kiwonvu ky'Okulabikirwa:
Kiki ekibatuuseeko,
ekibalinnyisizza
ku busolya bw'ennyumba?
2Ggwe ekibuga ekijjudde okuleekaana,
ekikyankalanye, ekiri mu kwesiima,
abantu bo abattiddwa
tebattiddwa kitala,
wadde okufiira mu lutalo.
3Abakulembeze bo bonna,
baddukira wamu ne bawambibwa
nga tebalasizza na kasaale,
bonna abasangiddwa mu ggwe
bawambiddwa wamu,
wadde baali baddukidde wala.
4Kyenva ŋŋamba nti:
Muveewo, temuntunuulira!
Mundeke ndire, nkungubage.
N'okunkubagiza temutegana
olw'abantu bange be nfiiriddwa.
5Kino kiseera kya kwaziirana
era kya kunyigirizibwa;
kiseera kya kusoberwa,
Mukama, Afugabyonna,
Nnannyinimagye ky'atutuusizzaako
mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa!
Ebisenge by'ekibuga kyaffe bimenyeddwa,
emiranga gy'abasaba obuyambi
ne giwulirwa mu nsozi.
6Abaserikale ab'omu nsi Elamu
bajjira ku magaali
wamu n'abeebagadde embalaasi
nga bambalidde emitego n'obusaale.
N'abaserikale ab'e Kiiri, engabo,
bajja na nsabuukulule.
7Awo ebiwonvu bya Buyudaaya
ebisingayo obugimu,
amagaali ne gabijjulamu.
Abeebagadde embalaasi
ne batalira mu miryango
gy'Ekibuga Yerusaalemu.
8Eby'okwerinda kwa Buyudaaya
ne biba nga biggyiddwawo.
Kale ebyo bwe byaba bityo,
olwo ne mukyukira
ebyokulwanyisa ebyali
mu luyitibwa Olubiri lw'ekibira.
9Mwalaba ebituli ebingi
ebyakubwa mu Kibuga kya Dawudi,
era ne mukuŋŋaanyiza wamu amazzi
ag'omu Kidiba Ekyawansi.
10Ne mubala mu Yerusaalemu
amayumba gaamu gonna agalimu,
ne mumenyaamenya ku gamu,
mugafunemu bye mukozesa
okuziba buli awaabomoka.
11Ne musima oluzzi
mu kibuga wakati,
mwe muba mukuumira amazzi
agava mu kidiba
kye mwalinawo edda.
Naye ne mutafa ku Oyo
eyategeka bino obw'edda,
era eyasalawo nti bibeewo.
12Era mu kiseera ekyo,
Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye
yali abayita mmwe
mukaabe amaziga mukungubage,
mwemwe emitwe,
mwambale ebikutiya.
13Naye mu kifo ky'ebyo,
mmwe muzze mu ssanyu na kujaguza,
kwettira nte na ndiga
ne mulya ennyama,
ne munywa omwenge,
nga mugamba nti:
“Ka tulye era tunywe
kubanga enkya tujja kufa.”#Laba ne 1 Kor 15:32
14Mukama Nnannyinimagye
yennyini yaŋŋamba nti:
“Mazima ekyonoono ekyo
tekiribasonyiyibwa mmwe,
okutuusa lwe mulifa.”
Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye
bw'atyo bw'agamba.
Okulabula Sebuna
15Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye
agamba nti:
“Genda eri Sebuna oyo omuwanika
akulira abakungu mu Ggwanga,
omugambe nti:
16‘Wano olinawo ki
era olinawo ani
otuuke n'okwesimira
entaana mu lwazi?
17Kale Mukama alikuvumbagira
wadde wafuna obukulu,
n'akukasuka lwa maanyi.
18Ddala alikyuka n'akuwuuba
n'akukasuka ng'omupiira
n'akusuula mu nsi engazi.
Eyo gy'olifiira,
era eyo ye walisigala amagaali
ge weenyumirizaamu.
Olikwasa ensonyi
ab'ennyumba ya mukama wo.
19Mukama alikuggya ku bukulu bwo,
n'akuwanula mu kifo kyo ekyawaggulu.’ ”
20Mukama yagamba Sebuna nti:
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka
ndiyita omuweereza wange Eliyakimu
mutabani wa Hilukiya,
21ne mmwambaza ekyambalo kyo,
ne mmunyweza n'olukoba lwo
ne mmuwa obuyinza bwonna
bw'obadde olina.
Aliba nga kitaawe w'abo
ababeera mu Yerusaalemu
ne mu Buyudaaya.
22Ndimuwa obuyinza obujjuvu okulabirira
eby'omu bwakabaka bwa Dawudi,
ne mmuwa ebisumuluzo,
nga bw'aggulawo
tewaba mulala aggalawo,
era nga bw'aggalawo
tewaba mulala aggulawo.#Laba ne Kub 3:7
23Ndimukomerera ng'enkondo
n'anywera mu kifo kye,
era aliweesa ekitiibwa
ab'ennyumba ya kitaawe.
24“Naye baganda be bonna
na buli wa lulyo lwe,
balimutikka buli kizibu
eky'ab'ennyumba ya kitaawe.
Bonna balyerippa ku ye
ng'obuleku n'ennyendo
era n'ebita byonna
bwe biwanikibwa ku nkondo.”
25Mukama Nnannyinimagye
agamba nti:
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
enkondo eyali ekomereddwa
mu kifo kyayo n'enywera,
erisimbukayo n'egwa,
era eyo ye eriba enkomerero y'ebyo
ebigiwanikiddwako.”
Mukama ye ayogedde.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.