رفتن به محتوا

YISAAYA 19

19
Katonda alibonereza Misiri
1Bino bye byalangibwa ku Misiri.
Laba Mukama yeebagadde ekire
ekidduka emisinde,
ajja e Misiri.
Ebifaananyi bya balubaale baayo,
birikankanira mu maaso ge,
era Abamisiri baliggwaamu omutima.#Laba ne Yer 46:2-26; Ezek 29:1–32:32
2Mukama agamba nti:
“Ndireeta olutalo mu Bamisiri
buli muntu n'alwana ne muganda we
era buli omu ne muliraanwa we,
ekibuga ne kirwana n'ekibuga kinnaakyo,
ne bakabaka ne bavuganya ku buyinza.
3Nditabulatabula
ebyo Abamisiri bye bategeka,
ne mbamalamu amaanyi.
Balyebuuza ku balubaale
ne ku basamize n'abalogo,
ne ku boogererwako emizimu.
4Ndiwaayo Abamisiri ne bafugibwa
omufuzi musibiramubbwa;
kabaka omukambwe alibafuga.
Nze Mukama Nnannyinimagye,
Nze ŋŋambye.”
5Amazzi ga Kiyira galikendeera,
mpolampola omugga ogwo gulikalira.
6N'emikutu gyagwo giriwunya
nga giggwaamu mpola amazzi,
ebitoogo n'ebisaalu ne biwotoka.
7Omuddo n'ebisigibwa byonna
ku lubalama lw'omugga ogwo,
biriwotoka ne bifa,
ne bisaanawo ne bivaawo.
8Era abaloba n'abavubiramu,
balinakuwala ne bakaaba.
Amalobo n'obutimba bye balina,
biriba tebikyabagasa.
9Abakola ebirukibwa mu bugoogwa,
n'abatunga engoye eza ppamba,
biribabula ne basoberwa.
10Era n'empagi kwe balukira
zirimenyebwa zonna,
era abo abakolera empeera
balibulwa olwo essuubi.
11Abakulembeze b'e Zowani,
gabaweddeko amagezi.
Abawabuzi ba Kabaka w'e Misiri
bamubuulira bimuwubisa.
Kale bamugamba batya
nti ddala bo be basika
ab'abawi b'amagezi,
n'aba bassekabaka ab'edda?
12Kale kabaka w'e Misiri,
baluwa abakuwa amagezi?
Kaakano oba bamanyi, bakubuulire
Nze Mukama Nnannyinimagye
kye nteeseza Misiri.
13Abakulembeze b'e Zowani
gabaweddeko amagezi,
n'abakulira Menfiisi
nabo bawubisiddwa.
Misiri abandigiwabudde,
kati baabo bagikyamizza!
14Mukama abataddemu omwoyo
ogw'okuwubisawubisa,
ne bawubisa Misiri
mu bikolebwa byonna,
n'etaga ng'omutamiivu
avuyira mu by'asesemye!
15Kati mu nsi ya Misiri
temuli mukulu oba muto,
mukulembeze oba afugibwa,
akola ebinaagigasa.
Misiri erimanya Mukama n'emusinza
16Ekiseera kirituuka, Abamisiri ne batya ng'abakazi. Balitya ne bakankana, bwe baliraba nga Mukama Nnannyinimagye agolodde omukono gwe okubabonereza. 17Eggwanga lya Buyudaaya lirikwasa Abamisiri entiisa. Buli awulira nga balyogerako anaatyanga, olw'ebyo Mukama Nnannyinimagye by'ategese okubatuusaako.
18Ekiseera ekyo bwe kirituuka, olulimi Olukanaani lulyogerwa mu bibuga bya Misiri bitaano, ng'abantu baayo balayira Mukama Nnannyinimagye. Ekibuga ekimu ku byo kiriyitibwa “Kibuga kya Kuzikirira.”
19Ekiseera ekyo bwe kirituuka, mu nsi y'e Misiri mulibaamu alutaari ewongereddwa Mukama, era ku nsalo y'ensi eyo kulibaako empagi ey'ejjinja emuwongereddwa. 20Obwo buliba bubonero era obujulizi obulaga Mukama Nnannyinimagye nga bw'ali mu nsi y'e Misiri. Era Abamisiri bwe balikoowoola Mukama nga banyigirizibwa, alibatumira omuyambi ow'amaanyi alibataasa, n'abawonya. 21Mukama alyemanyisa mu Bamisiri, ne bamumanya mu kiseera ekyo, ne bamusinza, ne bawaayo gy'ali ebitambiro n'ekitone. Balibaako ne bye bamusuubiza nga beeyama, era bye beeyamye, balibituukiriza. 22Mukama alibonereza Abamisiri, kyokka ate b'abonerezza alibawonya. Balikyukira gy'ali, ne bamwegayirira, n'abawonya.
23Ekiseera ekyo bwe kirituuka, walibaawo oluguudo oluva mu Misiri okugenda mu Assiriya. Abassiriya balijja mu Misiri, n'Abamisiri ne bagenda mu Assiriya, era Abamisiri n'Abassiriya balisinziza wamu Mukama.
24Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Yisirayeli aliba ku lubu lwe lumu ne Misiri era ne Assiriya, era amawanga ago gonsatule, galiweesa ensi yonna omukisa, 25kubanga Mukama Nnannyinimagye aligawa omukisa ng'agamba nti: “Misiri Eggwanga lyange, ne Assiriya Nze Nzennyini lye natonda, ne Yisirayeli lye neeroboza okuba eryange, gaweebwe omukisa.”