YISAAYA 20
20
Akabonero k'omulanzi ali obwereere
1Mu mwaka omuduumizi w'eggye mwe yalumbira Ekibuga Asudoodi, ng'atumiddwa Sarugoni Kabaka wa Assiriya, omuduumizi oyo yakikuba n'akiwamba. 2Mu kiseera kye kimu ekyo, Mukama n'agamba Yisaaya mutabani wa Amozi nti: “Genda weeyambulemu ekikutiya ky'oyambadde, era weenaanulemu n'engatto mu bigere.” Yisaaya n'akola bw'atyo, n'atambula ng'ali bwereere era nga tayambadde na ngatto. 3Mukama n'agamba nti: “Omuweereza wange Yisaaya amaze emyaka esatu ng'atambula ali bukunya, okulaga ebirituuka ku b'e Misiri n'ab'e Kuusi. 4Ne kabaka wa Assiriya bw'atyo bw'alitwala abasibe ab'e Misiri n'ab'e Kuusi, abato n'abakulu, nga bali bukunya era nga tebambadde na ngatto, n'amakugunyu gaabwe nga tegabikkiddwako, ekyo kiswazeswaze Misiri. 5Abo abaali beesiga Kuusi okubayamba, n'abaali beenyumiririza mu Misiri, balisoberwa ne baswala. 6Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ab'oku lubalama lw'ennyanja baligamba nti: ‘Mulabe ekituuse ku be twali twesiga okututaasa Kabaka wa Assiriya! Kale olwo ffe tuliwona tutya?’ ”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.