YISAAYA 18
18
Mukama alibonereza Kuusi
1Emitala w'emigga gy'e Kuusi,
waaliwo ensi ewulirwamu
okukubagana kw'ebiwaawaatiro.#Laba ne Zef 2:12
2Ensi eyo etuma ababaka ku nnyanja
bayite ku mazzi mu bibaya,
ng'egamba nti: “Mugende mu bwangu
mu nsi eyawulwamu emigga,
mutwalire obubaka
abantu abawanvu
era ab'olususu oluweweevu,
abaakuba ensi yonna entiisa
kasookedde babaawo n'okutuusa kati.
Obubaka bugamba nti:
3‘Mwenna abatuuze b'omu nsi,
abantu abali mu buli ggwanga,
mutunulanga ne mulaba
nga bbendera esimbiddwa ku nsozi,
ng'ekkondeere lifuuyiddwa.’
4Kubanga Mukama aŋŋambye nti:
‘Mu kifo kyange mwe mpummulira,
ndisirika ne ntunuulira,
nga ndi ng'ebbugumu eribuubuukira
mu kasana akeememula,
era ng'omusulo ogusitukira
mu lubugumu lw'obudde obw'amakungula.’
5Alizikiriza abaserikale b'abantu abo
nga tebannalumba,
nga bwe kyandikoleddwa ku muti
ng'okumulisa kuwedde,
n'ebimuli nga bifuuse
ebibala ebyengedde,
naye okukungula nga tekunnabaawo,
oli n'atema amatabi n'agawanulayo
yonna gye galandidde.
6Emirambo gyabwe girirekebwa awo
okuvaabirwa ebinyonyi eby'oku nsozi
n'ebisolo ebikambwe ebiruvu.
Ebinyonyi birigyeriira mu kyeya,
n'ebisolo ne bigyekavvulira
mu biseera eby'obutiti.
7Abantu abo abawanvu
ab'olususu oluweweevu
abaakuba ensi yonna entiisa
kasookedde babaawo n'okutuusa kati,
era abalina ensi
eyawulwamu emigga,
ekiseera kirituuka
ne baleetera ekirabo
Mukama Nnannyinimagye
mu kifo kye bamusinzizaamu
ku Lusozi Siyooni.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.