YISAAYA 17
17
Obubaka ku Damasiko
1Bino bye byalangibwa ku Damasiko:
“Laba Damasiko kiggyiddwawo,
tekikyali kibuga
era kinaabanga ntuumu
ey'ebimenyeddwamenyeddwa.#Laba ne Yer 49:23-27; Am 1:3-5; Zek 9:1
2Ebibuga bya Aroweri
birekeddwawo ttayo.
Binaabeeranga malundiro
ga ndiga na mbuzi,
mwe zinaagalamiranga
awatali azikanga.
3Abeefurayimu banaabanga
tebakyaliko bigo bibataasa,
nga ne Damasiko
tekikyalina bwakabaka.
Abasiriya abaliwonawo
nabo baliba mu kuswala
ng'ab'omu Yisirayeli.
Mukama Nnannyinimagye,
bw'atyo bw'agambye.
4Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera,
ne mu kifo ky'okugejja, n'akogga.
5Yisirayeli eriba ng'ennimiro
esaliddwamu eŋŋaano ekunguddwa.
Eriba nkalu ng'omusiri
gw'omu Kiwonvu Refayiimu,
gwe bamaze okulondamu ebirimba.
6Naye mu Yisirayeli mulisigalamu
abantu abatonotono
ng'omuzayiti ogunogeddwako ebibala
bwe gusigazaako ebibiri oba ebisatu
waggulu ku busongezo obukomererayo,
n'ebibala ebina oba ebitaano
mu matabi gaagwo amaziyivu.
Mukama, Katonda wa Yisirayeli,
bw'atyo bw'agambye.”
7Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
abantu balissa omutima
ku Mutonzi waabwe,
amaaso bagakyusize
eri Omutuukirivu wa Yisirayeli.
8Baliba tebakyesiga zaalutaari
ze beekolera n'emikono gyabwe,
oba okwesiga ebirala bye bakoze,
oba ebifaananyi bya lubaale Asera
wadde zaalutaari
kwe banyookereza obubaane.
9Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
ebibuga eby'amaanyi
biriba ebifulukwa ng'ebiri mu bibira
n'ebiri ku ntikko z'ensozi,
ebyayabulirwa ng'Abayisirayeli batuuka,
era birizika ne bifuuka matongo.
10Ggwe Yisirayeli, weerabidde Katonda akuwonya,
era ali ng'olwazi olugumu
mwe weewogoma,
kyovudde osimba emiti egisanyusa
n'ogiwongera balubaale.
11Naye ne bwe ginaakulirawo
ne gimulisizaawo ku makya
g'olunaku lw'ogisimbiddeko,
era tewaliba bikungulwa,
wabula okunakuwala era n'okukungubaga.
Mukama aliwangula abalabe be
12Ha, wulira okuyira kw'abantu abangi,
kuli ng'okuyira kw'ennyanja!
Wulira okuwuluguma kw'amawanga,
kuli ng'okuwuluguma
kw'amayengo ag'amaanyi!
13Amawanga gawuluguma
ng'amayengo g'amazzi amangi.
Kyokka Katonda aligakomako,
ne gaddukira wala.
Galiba ng'ebisusunku ku lusozi
ebikuŋŋunsibwa kibuyaga,
era galiba ng'enfuufu
mu mbuyaga ey'akazimu.
14Balireeta entiisa akawungeezi,
naye we bulikeerera,
baliba tebakyaliwo.
Ogwo gwe guliba omugabo
gw'abo abatunyaga,
era ye eriba empeera y'abo
abatubbako ebyaffe.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.