YISAAYA 16
16
Abamowaabu basoberwa
1Okuva mu Kibuga Seela
ekiri mu ddungu,
muweereze ekirabo
eky'endiga ento eri Oyo
afuga mu Yerusaalemu.
2Abamowaabu balindira ku mbalama
z'Omugga Arunoni,
nga babungeetera okwo
ng'ennyonyi ezigobeddwa
mu kisu ne zisaasaana.
3Bagamba ab'omu Buyudaaya nti:
“Mutubuulire eky'okukola.
Mutubikkirire ng'omuti
oguwa ekisiikirize
mu ttuntu ery'ekyeya.
Muleke twewogome mu kyo.
Tuli babungeese, mutukweke
aweekusifu we bataatulabe.
4Mutuleke tubeere mu nsi yammwe
mutuwonye oyo atuzikiriza,
kubanga okunyigiriza
n'okuzikiriza bwe birikoma,
abo abanyagulula ensi baligenda.”
5Olwo omu ku b'ezzadde lya Dawudi,
alituula ku ntebe ey'obwakabaka.
Alifuga abantu nga musaasizi,
era ng'alamuza mazima.
Aliba mwangu mu kukola ebituufu,
era alifugisa bwenkanya.
6Ab'omu Buyudaaya bagamba nti:
“Tuwulidde Abamowaabu
nga bwe bali abeekuza.
Tumanyi nga beekulumbaza nnyo,
era beepanka,
kyokka beewaanira bwereere.”
7Abamowaabu balikaaba,
bonna balikaaba olw'okubonaabona.
Balinakuwala bwe balijjukira
emmere ennungi gye baalyanga
mu Kibuga Kiiri Hareseeti.
Balituuka okuterebuka.
8Eby'omu nnimiro z'e Hesubooni biwotose,
era n'emizabbibu gy'e Sibuma.
Egyo mwe mwasogolwanga
omwenge ogwatamiizanga
abafuzi b'amawanga.
Amatabi gaagyo gaalanda
okutuukira ddala e Yazeri
ne gatuuka mu ddungu,
ne galanda ne ku ludda olulala,
ne gasomoka Ennyanja Enfu.
9Kale ndikaabira emizabbibu gy'e Sibuma,
nga bwe ndikaabira Yazeri.
Ndifukumula amaziga olwa Hesubooni
n'olwa Eleyaale,
kubanga amakungula gammwe
galisaanikirwa emiranga gy'olutalo.
10Kaakano tewali asanyuka
mu misiri emigimu,
tewali ayimba olw'essanyu
mu nnimiro z'emizabbibu.
Tewali asogola mizabbibu
kugikolamu mwenge.
Nkomezza emizira gy'abasogozi.
11Kyenva nnyolwa olwa Mowaabu,
ne nennyamira olwa Kiiri Heresi.
12Abamowaabu balyekooyeza bwereere
okugenda mu bifo ebigulumivu
okusaba balubaale baabwe.
Tebalifunamu mugaso.
13Obwo bwe bubaka Mukama bwe yawa ku Mowaabu edda. 14Naye kaakano Mukama agamba nti: “Emyaka esatu, ng'egiragaanibwa oyo akolera empeera, oluliggwaako, ekitiibwa kya Mowaabu kiriba tekikyaliwo. Ku bantu ba Mowaabu abangi, waliba wasigaddewo batono nnyo, era nga tebakyalina maanyi.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.