YISAAYA 15
15
Okuzikirizibwa kwa Mowaabu
1Buno obubaka
bufa ku Mowaabu.
Ebibuga bya Mowaabu Ari ne Kiiri
birizikirira mu kiro kimu,
ne bifuuka matongo.#Laba ne Yis 25:10-12; Yer 48:1-47; Ezek 25:8-11; Am 2:1-3; Zef 2:8-11
2Abantu b'e Diboni
balinnye akasozi,
bakaabire eyo amaziga.
Abamowaabu bakungubagira
ebibuga Nebo ne Medeba.
Era okulaga obunakuwavu,
basazeeko enviiri n'ebirevu.
3Abantu bonna mu nguudo,
bikutiya bye bambadde.
Waggulu ku nnyumba zaabwe
ne mu bibangirizi by'ebibuga
biwoobe bye bakuba,
nga bakaaba nnyo amaziga.
4Ab'e Hesubooni ne Eleyaale
batema miranga myereere,
era eddoboozi lyabwe liwulirwa
okutuukira ddala e Yahazi.
N'abaserikale ba Mowaabu
bakaaba nga baleekaana,
olw'encukwe muli ebakubye.
5Nnumirwa Abamowaabu abo!
Abakungu baabwe baddukira e Zowari,
n'e Egulaati Selisiya.
Abamu bambukidde mu kkubo ly'e Luhiiti
nga bambuka bakaaba amaziga.
Abalala bakutte ly'e Horonayimu,
nga bakaaba olw'obutaba
na ssuubi lya kuwona.
6Akagga Nimurimu kakalidde.
Omuddo ku mabbali gaako guwotose,
ebimera ebigimu biweddewo,
tewakyali kintu kimerawo.
7Ebintu ebingi bye bafunye,
n'ebyo bye baali baterese,
kyebaliva babiddusa nga babiyisa
mu Kiwonvu ky'emiti egy'enzingu.
8Okukaaba kuwulirwa wonna
ku nsalo za Mowaabu,
okuwoggana kwayo kuwulirwa
ne mu Yegulayiimu,
ne mu Beereliimu.
9Amazzi g'e Dimoni gajjudde omusaayi,
era Mukama alireeta n'akabi akalala
ku bantu baayo.
Empologoma zirirya
abaliwonawo ku Bamowaabu,
abasigaddewo mu nsi eyo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.