YISAAYA 14
14
Okuva mu buwaŋŋanguse
1Mukama aliddamu okukwatirwa ekisa aba Yakobo, addemu okulonda Abayisirayeli babe bantu be, era alibazzaayo mu nsi yaabwe, mwe baba babeera. N'abagwira balijja ne babeeranga wamu ne bazzukulu ba Yakobo abo, ne babeekwatirako ddala. 2Amawanga mangi galiyamba Abayisirayeli okuddayo mu nsi yaabwe, Mukama gye yabawa, era ab'amawanga amalala baliba abaddu n'abazaana okubaweerezanga. Abayisirayeli baliwamba abo abaabawambanga, era banaafuganga abo abaabajoonyesanga.
Okukudaalira Kabaka w'e Babilooniya
3Ekiseera kirituuka, Mukama n'abawa mmwe okuwummula mu kubonaabona ne mu kutegana, ne mu mirimu emikakali gye mwawalirizibwanga okukola. 4Mulikudaalira kabaka wa Babilooniya, nga mugamba nti:
“Omufuzi kalibukambwe akomye?
N'obukambwe bwe kati lufumo?
5Mukama akomezza
obuyinza bw'ab'effugabbi,
amenye omuggo
gw'obwakabaka bwabwe
6abaatulugunyanga n'obukambwe
amawanga olutata,
abaafuganga n'ekiruyi amawanga
nga bafuuse bannantagambwako?
7Ensi yonna kaakano ewummudde,
eteredde ntende.
Abantu babaguka ne bayimba.
8Ddala emisizi gijaganya
olw'okugwa kwo,
n'emivule gy'oku Lebanooni
gigamba nti:
‘Kasookedde ofa, tewakyali atutema!’
9“Ab'emagombe wansi,
bagugumuse ku lulwo,
okukwaniriza ng'ojja.
Bagolokosa bonna abaliyo,
abaali abafuzi ku nsi.
Bonna abaali bakabaka,
basituse ku ntebe zaabwe.
10Bonna abo balisaakaanya
ne bakugamba nti:
‘Leero naawe
ofuuse munafu nga ffe?
Ofaananira ddala nga ffe?
11Ekitiibwa kyo
n'ennyimba ze bakuyimbira,
bisse, biri magombe!
Weeyalidde nvunyu,
era nvunyu ze weebisse!’
12“Ggwe emmunyeenye y'oku makya,
ayaka ennyo n'omyansa,
owanuse ku ggulu n'ogwa!
Ggwe eyafufuggazanga amawanga,
oli ku ttaka omeggeddwa!#Laba ne Kub 8:10; 9:1
13“Mu mutima gwo walowoozanga
ng'olirinnya mu ggulu,
osse entebe yo
waggulu w'emmunyeenye za Katonda,
era ng'olituula ku lusozi
balubaale lwe bakuŋŋaanirako,
ewala eyo mu bukiikakkono.#Laba ne Mat 11:23; Luk 10:15
14Wagamba nti olirinnya n'otumbiira
era n'ebire n'obiyisa,
n'obeerera ddala ng'Oli Atenkanika.
15Naye ossiddwa magombe,
wansi ku ntobo y'obunnya.
16“Eyo abakulaba, baneewuunyanga
ne bagamba nti: ‘Ono ye wuuyo
eyakankanyanga ensi,
obwakabaka ne buyuuguuma?
17Ye ono eyazikirizanga ebibuga,
ensi n'agifuula eddungu?
Ye wuuno ataatanga basibe,
kubaleka badde ewaabwe?’
18“Bakabaka bonna ab'ensi,
baziikibwa mu kitiibwa
mu masiro ge babazimbidde.
19Naye ggwe toliiko malaalo,
osuuliddwa kuvundira bweru.
Obikkiddwa mirambo gy'abo
abattiddwa mu lutalo,
ng'osuuliddwa wamu nabo
mu kinnya ky'amayinja,
n'oba omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.
20Nga bwe wazikiriza ensi yo,
abantu bo n'obatta,
toliziikibwa nga bakabaka banno.
Ezzadde ly'abakozi b'ebibi
liryerabirwa ennaku zonna.
21Mutegekere abaana be okuttibwa
olw'ebibi bya bajjajjaabwe,
baleme kuyimuka ne balya ensi,
ne bagijjuza yonna ebibuga.”
Okuzikirizibwa kwa Babilooni
22Mukama Nnannyinimagye agamba nti:
“Ndirumba Babilooni ne nkizikiriza,
kibuleko erinnya n'abawonyeewo,
kibuleko omwana n'omuzzukulu.
Nze Mukama, bwe ntyo bwe ŋŋambye.
23Ndifuula Babilooni
amaka ga nnamunnungu
n'ebidiba by'amazzi,
era ndikyera n'olweyo oluzikiriza.
Nze Mukama Nnannyinimagye,
bwe ntyo bwe ŋŋambye.”
Okuzikiriza Abassiriya
24Mukama Nnannyinimagye
alayidde nti:
“Mazima nga bwe ntegese,
bwe kinaatuukirira;
era nga bwe nsazeewo,
bwe kinaakolebwa.#Laba ne Yis 10:5-34; Nah 1:1–3:19; Zef 2:13-15
25Ndittira Abassiriya mu nsi yange,
ne mbalinnyirira n'ebigere
ku nsozi zange.
Olwo ekikoligo
kiribavaako mmwe, kye babasibye;
n'omugugu gwe babatisse,
guliva ku bibegabega byammwe.
26Ekyo kye ntegekedde ensi,
era ngolodde omukono gwange,
mbonereze amawanga gonna.”
27Mukama Nnannyinimagye ky'ateesezza,
tewali ayinza kukijjulula,
n'omukono gwe ogugoloddwa,
tewali ayinza kuguzzaayo.
Okuzikiriza Abafilistiya
28Bino byalangwa mu mwaka,
Kabaka Ahazi mwe yafiira.#Laba ne 2 Bassek 16:20; 2 Byom 28:27
29“Mmwe Abafilistiya, temusanyuka
wadde ng'omuggo ogwabakuba mwenna
gumenyese.
Awabadde omusota ogwa nnawandagala
waliddawo ssalambwa!
Ne mu ggi lyalyo
mulivaamu musota
ogubuuka mu bbanga,
era oguwandula omuliro.#Laba ne Yer 47:1-7; Ezek 25:15-17; Yol 3:4-8; Am 1:6-8; Zef 2:4-7; Zek 9:5-7
30Mukama ye aliba omusumba
aliisa abantu be abanaku ennyo;
n'abatalina kantu,
balibeera mirembe.
Kyokka mmwe Abafilistiya,
Mukama alibassa enjala.
N'abaliba bawonyeewo
nabo balittibwa.
31Muwowoggane, mukaabe mmwe
ababeera mu bibuga!
Mujja kusaanawo mmwe,
Abafilistiya mwenna!
Kubanga ekire eky'enfuufu
ekiva ebukiikakkono kijja.
Eryo lye ggye ly'abalabe,
omutali mutiitiizi!
32Kale ababaka b'eggwanga eryo
balyanukulwa batya?
Nti ‘Mukama yateekawo Siyooni
era mu kyo abantu be abateeyamba
mwe baliddukira.’ ”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.