رفتن به محتوا

YISAAYA 13

13
Katonda alibonereza Babilooni
1Buno bwe bubaka obufa ku Babilooni, Yisaaya mutabani wa Amozi bwe yafuna mu kulabikirwa.#Laba ne Yis 47:1-15; Yer 50:1–51:64
2“Muwanike bbendera y'olutalo ku lusozi olutaliiko muddo. Mukoowoole abaserikale, mubawenye n'omukono, bayingire mu miryango gy'ekibuga ekirimu abakungu. 3Nze Mukama, ndagidde abawonge bange, era basajja bange ab'amaanyi, abeenyumiririza mu kitiibwa kyange, mbayise okubonereza abo be nsunguwalidde.”
4Muwulire okuyoogaana okuli ku nsozi, okuyoogaana ng'okw'ekibiina ky'abantu ekinene, okuyoogaana kw'obwakabaka bw'amawanga agakuŋŋaanye. Mukama Nnannyinimagye akuŋŋaanyizza eggye okulwana olutalo. 5Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'ensi. Mukama ng'ali wamu n'abo b'akozesa bw'asunguwala, ajja okuzikiriza ensi yonna.
6Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku Omuyinzawaabyonna lw'alireeterako okuzikirira.#Laba ne Yol 1:15 7Emikono gya buli muntu giritekemuka, era omutima gwa buli omu guliyenjebuka. 8Abantu bonna balitya, era balijjula obulumi, ng'omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako mu kutya, amaaso gaabwe ne gajjula ensonyi. 9Olunaku lwa Mukama luulwo lujja, olunaku olukambwe, luliraga obusungu bwe n'ekiruyi kye, okusaanyaawo ensi, okuzikiriza n'okugimaliramu ddala abalina ebibi. 10Emmunyeenye kinneemu, ne mu bibinja byazo, zirirekera awo okwaka, n'enjuba erikwata ekizikiza ng'evaayo, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.#Laba ne Ezek 32:7; Mat 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:15; Kub 6:12-13
11Mukama agamba nti: “Ndituusa akabi ku nsi, era ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe. Ndikomya olwetumbu lw'abeegulumiza, era nditoowaza buli eyeekulumbaza n'atiisatiisa abalala. 12Ndifuula abantu okuba ab'omuwendo okusinga zaabu omulungi, ddala baliba ba bbula okusinga zaabu ow'e Ofiri. 13Ndikankanya eggulu, n'ensi erinyeenyezebwa n'eva mu kifo kyayo, ku lunaku Nze Mukama Nnannyinimagye lwe ndiragirako obusungu bwange n'ekiruyi.
14“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abagwira balidduka, nga bali ng'empeewo egobebwa abayizzi, era nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba, buli omu okudda mu bantu be mu nsi y'ewaabwe. 15Buli gwe baligwikiriza, alifumitibwa, na buli gwe baliwamba, aliba wa kuttibwa. 16Abaana baabwe abawere balikubwa wansi ne babetentebwa, nga bo bennyini balaba. Ennyumba zaabwe zirinyagibwamu ebintu, ne bakazi baabwe balikwatibwa olw'empaka.”
17Mukama agamba nti: “Laba ndibawendulira Abameedi abatafa ku ffeeza, era abatasikirizibwa zaabu, ne babalumba. 18Balikozesa emitego n'obusaale, ne batta abavubuka. Tebalisaasira mabujje, wadde okubaako omwana omuto gwe basonyiwa.”
19Babilooni ekiweesa obwakabaka ekitiibwa, era ekirungi ekyeyagaza Abakaludaaya, kiriba nga Sodoma ne Gomora, Katonda bye yazikiriza.#Laba ne Nta 19:24 20Tekiriddamu kubeeramu bantu emirembe gyonna. Tewaliba Muwarabu asimbayo weema, wadde abasumba abalundirayo amagana gaabwe. 21Ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaabeerangayo, n'ennyumba zaabwe zirijjulamu ebintu ebisindogoma. Ne bimmaaya binaabeeranga eyo, n'emisambwa ginaaziniranga eyo.#Laba ne Yis 34:14; Zef 2:14; Kub 18:2 22Emisege gye ginaakaabiranga mu minaala gyabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ekinyumu. Ekiseera kya Babilooni eky'enkomerero kiri kumpi kutuuka, n'ennaku zaakyo zinaatera okuggwaako.