رفتن به محتوا

YISAAYA 12

12
Oluyimba olw'okwebaza
1Olunaku olwo bwe lulituuka,
abantu baliyimba nti:
“Nnaakwebaza, ayi Mukama.
Ggwe eyali ansunguwalidde,
obusungu bwo buweddewo,
era kaakati onsanyusizza.
2Ddala Katonda ye Mulokozi wange,
nnaamwesiganga ne sitya.
Mukama Oyo ow'Olubeerera
ge maanyi gange,
era Ye gwe nnyimba,
Ye wuuyo Omulokozi wange.#Laba ne Kuv 15:2; Zab 118:14
3Ng'amazzi amalungi
bwe gasanyusa abayonta,
n'abantu ba Katonda
bwe basanyuka
ng'abalokodde.”
4Olunaku lulituuka ne mugamba nti:
“Mwebaze Mukama,
mumutendereze.
Mumanyise ab'omu mawanga
ebyamagero by'akola.
Mubategeeze nga bw'ali oweekitiibwa.
5Muyimbe nga mutendereza Mukama,
olw'ebikulu by'akoze.
Mubimanyise ensi yonna.
6Muyimbe n'essanyu musaakaanye
mmwe abatuuze b'omu Siyooni,
kubanga Katonda Omutuukirivu
owa Yisirayeli, mukulu,
ate ali wakati mu mmwe.”