YISAAYA 11
11
Obwakabaka obw'emirembe
1Ng'akatabi bwe kasibukira
ku kikonge ky'omuti ogutemeddwa,
ne mu bazzukulu ba Yesse
bwe mulisibukamu Kabaka.#Laba ne Kub 5:5; 22:16
2Mwoyo wa Mukama aliba ku ye
okumuwa amagezi n'okutegeera,
era n'okubuulirira.
Alimuwa amaanyi
era alimusobozesa
okumanya Mukama
n'okumussangamu ekitiibwa.
3Essanyu lye linaabeeranga
mu kugondera Mukama.
Taasalenga misango
nga yeesigama ku byakungulu by'alaba
oba ku by'awulidde obuwulizi.
4Kyokka anaasalanga emisango gy'abaavu
ng'agoberera mazima,
era anaataasanga eby'abatalina mwasirizi
ng'akolera ku bwenkanya.
Aliwa ekiragiro mu nsi,
abantu ne babonerezebwa
era ababi ne battibwa.#Laba ne 2 Bat 2:8
5Obufuzi bwe alibwesigamya
ku bwenkanya na ku bwesigwa.#Laba ne Beef 6:14
6Omusege n'endiga ento
binaabeeranga wamu mu ddembe,
era engo n'embuzi ento
binaagalamiranga wamu.
Ennyana empologoma,
n'ente eyassava, zinaabanga wamu
ng'omwana omuto ye azirunda.#Laba ne Yis 65:25
7N'ente n'eddubu zinaaliranga wamu,
n'abaana baazo bagalamirenga wamu mu ddembe.
N'empologoma eneeryanga muddo ng'ente.
8Omwana akyayonka anaazannyiranga
ku kinnya ky'enswera,
n'omuto eyaakava ku mabeere,
anaateekanga omukono gwe
mu kinnya omuli essalambwa.
9Ku Siyooni, Olusozi lwa Katonda Olutukuvu,
tewaliba kikola bulabe wadde okuzikiriza,
kubanga ensi erijjula okumanya Mukama,
ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.#Laba ne Hab 2:14
Abantu abaawaŋŋangusibwa balidda
10Olunaku lulituuka, oyo asibuka mu Yesse, n'aba akabonero eri amawanga. Amawanga ago galikuŋŋaanira w'ali, era ekifo mw'afugira kiriba kyakitiibwa.#Laba ne Bar 15:12 11Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aliddamu okukozesa obuyinza bwe, abantu be abaliba basigaddewo n'abakomyawo ng'abaggya mu Assiriya, ne mu Misiri ne mu Paturoosi, ne mu Kuusi, ne mu Elamu, ne mu Sinaari, ne mu Hamati, ne mu bizinga ebiri mu nnyanja. 12Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ng'abaggya gye baasaasaanyizibwa mu njuyi zonna ennya ez'ensi. 13Obuggya bw'Abeefurayimu buliggwaawo, n'abalabe ba Buyudaaya balizikirizibwa. Obwakabaka bwa Yisirayeli tebulikwatirwa bwakabaka bwa Buyudaaya buggya, ne Buyudaaya teriba mulabe wa Yisirayeli. 14Balyetaba wamu ne balumba Abafilistiya ebugwanjuba, era ne banyaga abantu ab'ebuvanjuba. Baliwangula Abeedomu n'Abamowaabu, era Abammoni balibagondera. 15Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ddala ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Ewufuraate, n'agwawulamu obugga musanvu, abantu bwe basomoka nga tebatobye na bigere,#Laba ne Kub 16:12 16ne walyoka wabaawo oluguudo, abantu be Abayisirayeli abaliwonawo mwe baliyita, nga bava mu Assiriya, nga bwe waaliwo olwo Abayisirayeli mwe baayita, nga bava mu nsi y'e Misiri.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.