رفتن به محتوا

HOSEYA 9

9
Hoseya alanga okubonerezebwa kwa Yisirayeli
1Abayisirayeli muleme kusanyuka ng'ab'amawanga amalala, kubanga mweggye ku Katonda wammwe, ne mutaba beesigwa gy'ali. Mwetunze nga bamalaaya eri lubaale Baali, era mwagadde eŋŋaano ku buli gguuliro, nga gye mubala nti ye mpeera gy'abasasudde. 2Naye egguuliro n'essogolero binaatera obutabawa kimala, n'omwenge omusu gunaatera okubaggwaako. 3Abayisirayeli tebajja kusigala mu nsi ya Mukama, naye bajja kuddayo mu Misiri, era banaaliiranga mu Assiriya emmere eteri nnongoofu. 4Mu nsi ezo engwira, tebaasobolenga kutona mwenge eri Mukama, wadde okuleeta ebitambiro byabwe gy'ali. Emmere gye banaalyangako, eneebafuulanga abatali balongoofu, ng'emmere eriirwa awali omufu. Banaagiryanga kukkuta bukkusi, teetwalibwengako kuweebwayo ng'ekirabo mu Ssinzizo lya Mukama.
5Mulikola ki ku lunaku olukulu, olunaku olw'Embaga ya Mukama? 6Okuzikirira bwe kulituuka, abantu ne basaasaana, Abamisiri balibakuŋŋaanya, ne baziikibwa abatuuze b'e Ninfiisi. Ebyobugagga byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'eweema zaabwe, birimeramu omuddo n'amaggwa ne bizika.
7Ekiseera eky'okubonererezaamu kituuse. Kye kiseera, abantu mwe banaafunira ekibagwanira, era Yisirayeli ajja kukimanya. Mujja kugamba nti: “Omulanzi musirusiru. Omusajja ono afuuyirirwa mwoyo, alaluse.” Mugamba bwe mutyo, kubanga ekibi kyammwe kinene, era obukyayi bwammwe bungi.#Laba ne Luk 21:22 8Nze mulanzi, Katonda gw'atumye okulabula abantu be Abayisirayeli. Naye buli we ndaga, bantega emitego, ng'abatega ekinyonyi. Ne mu nnyumba yennyini eya Katonda, abantu balabe ba mulanzi. 9Beeyonoonye nnyo, nga bwe beeyonoona e Gibeya#9:9 E Gibeya: Waaliwo Abayisirayeli ab'omu kika kya Benyamiini, abaasobya ku muk'Omuleevi, omukazi oyo n'afa. Kino kyasitulawo olutalo mu ggwanga, ne lubulako katono okusaanyaawo ab'ekika kya Benyamiini. Laba Abalanzi 19 21.. Katonda alijjukira okwonoona kwabwe, n'ababonereza olw'ebibi byabwe.#Laba ne Balam 19:1-30
Ekibi kya Yisirayeli n'ebibala byakyo
10Mukama agamba nti: “Nasanga Yisirayeli, ng'asanga emizabbibu egikulira mu ddungu. Nalaba bajjajjammwe, ng'alaba ebibala by'omutiini ebisooka okwengera mu mwaka. Naye bwe baatuuka ku Lusozi Pewori, ne batandika okusinza Baali, ne bafuuka ekyenyinyalwa, nga balubaale be baayagala.#Laba ne Kubal 25:1-5 11Ekitiibwa kya Yisirayeli kiribuuka mu bbanga, ne kigenda ng'ekinyonyi: tewaliba baana bazaalibwa, wadde abakazi abali embuto, wadde abazifuna. 12Naye ne bwe balizaala abaana, era ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu. Abantu bano bwe ndibavaako, ziribasanga!”
13Ndaba abaana ba Yisirayeli nga bayiggibwa ne battibwa. 14Ayi Mukama, kiki kye mba nkusaba okolere abantu bano? Leka bakazi baabwe baveemu embuto, era okaze amabeere gaabwe.
Mukama asalira Yisirayeli omusango
15Mukama agamba nti: “Baatandikira Gilugaali okukola ebibi. Eyo gye natandikira okubakyawa. Ndibagoba mu nsi yange olw'ebibi bye bakoze. Siriddayo kubaagala. Abakulembeze baabwe bonna bajeemu. 16Abayisirayeli bali ng'omuti ogutemeddwa ne gukala emirandira, ogutakyabala bibala. Tebalizaala baana. Naye ne bwe balizaala, nditta abaana baabwe abaagalwa.”
17Katonda wange aliboola abantu be, kubanga tebamuwulira. Baliba babungeese mu mawanga.