رفتن به محتوا

HOSEYA 8

8
Mukama abonereza Yisirayeli
1Mukama agamba nti: “Mufuuwe eŋŋombe! Abalabe bajja ng'empungu okulumba ensi yange, kubanga abantu bange bamenye endagaano gye nakola nabo, era bajeemedde amateeka gange. 2Wadde balimpita Katonda waabwe, ne bagamba nti: ‘Ffe Abayisirayeli tukumanyi’, 3naye bagaanye ekirungi. N'olwekyo abalabe baabwe balibayigganya.
4“Bataddewo bakabaka, naye nga tebakikola ku lwange. Balonze abakulembeze nga tebantegeezezza. Baddidde ffeeza ne zaabu waabwe ne bakola ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira. 5Nkyawa ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza. Mbasunguwalidde. Balikoma ddi okwonoona? 6Kubanga omukozi Omuyisirayeli ye yakola ekifaananyi ekyo, n'olwekyo ekifaananyi ekyo si Katonda n'akatono. Ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza, eribetentebwa. 7Baasiga mpewo, balikungula mbuyaga. Eŋŋaano etebaze, tevaamu mmere. Ne bw'eriba ebaze, ab'amawanga amalala baligirya.
8“Yisirayeli efuuse ng'amawanga amalala, era tekyagasa: eri ng'ekibya ekyatise. 9Kubanga Abayisirayeli bagenze mu Assiriya okusaba obuyambi. Bali ng'entulege eyeewaggula, etambula yokka. Baguliridde ab'amawanga amalala okubakuuma. 10Kale nja kubakuŋŋaanyiza wamu mbabonereze, era banaatera okukaaba, kabaka w'Abassiriya bw'anaabanyigiriza.
11“Abayisirayeli gye bakoma okuzimba emyaliiro olw'okuggyawo ebibi, gye bakoma okwonoona. 12Newaakubadde mbawandiikira amateeka gange agatabalika olw'obungi, bagagaana ng'ekintu ekigwira. 13Banyumirwa okumpa ebitambiro. Batambira ensolo, ne balya ennyama ey'ebitambiro ebyo. Naye nze Mukama sibasanyukira, era kaakano, nja kujjukira ebibi byabwe mbabonereze olw'ebibi ebyo. Bajja kuddayo mu Misiri!
14“Abayisirayeli bazimbye amayumba, naye beerabidde eyabatonda. Ab'omu Buyudaaya bongedde okuzimba ebibuga ebiriko ebigo. Naye nja kusindika omuliro gwokye ebibuga byabwe n'ebigo byabwe.”