HOSEYA 10
10
Omulanzi ayogera ku Yisirayeli
1Abayisirayeli bali ng'omuzabbibu ogubala ennyo. Gye baakoma okweyongera obungi, gye baakoma n'okuzimba zaalutaari. Ensi yaabwe gye yakoma okweyongera okuba ennungi, gye baakoma n'okulungiya empagi ez'amayinja ze basinza. 2Emitima gyabwe tegitereera ku kimu. Kale kaakano bajja kubonaabona olw'ebibi byabwe. Katonda ajja kumenyawo zaalutaari zaabwe, era azikirize n'empagi ez'amayinja ze basinza.
3Banaatera okugamba nti: “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama. Naye kabaka kiki ky'ayinza okutukolera?” 4Boogera bigambo bugambo, ne balayira eby'obulimba mu kukola endagaano. Ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro.
5Ab'e Samariya balitya, era balikungubaga olw'okuviibwako ennyana eya zaabu ey'e Betaveni. Bo awamu ne bakabona abagisinza, baligikaabira. Baliwuubaala bw'eriggyibwako ekitiibwa kyayo. 6Nayo eritwalibwa mu Assiriya, okuba ekirabo kya kabaka omukulu. Abayisirayeli balikwatibwa ensonyi ne baswala, olw'amagezi ge baagoberera. 7Kabaka w'e Samariya alitwalibwa ng'ekibajjo ky'omuti bwe kitwalibwa ku mazzi. 8N'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, Abayisirayeli gye basinziza ebifaananyi, birizikirizibwa. Amaggwa n'omuddo birimera ku zaalutaari zaabwe. Baligamba ensozi nti: “Mutubuutikire!” n'obusozi nti: “Mutugweko!”#Laba ne Luk 23:30; Kub 6:16
Mukama asalira Yisirayeli omusango
9Mukama agamba nti: “Abayisirayeli tebalekangayo kukola bibi, okuviira ddala mu kiseera kye baakoleramu ebibi e Gibeya. Kale olutalo lulibakwatira e Gibeya#10:9 Gibeya: Laba ne 9:9..#Laba ne Balam 19:1-30 10Ndirumba abantu bano aboonoonyi, ne mbabonereza. Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa, era balibonerezebwa olw'ebibi byabwe ebingi.
11“Yisirayeli edda yali ng'ente ennyana eyigiriziddwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano. Naye nasalawo okumuteeka ekikoligo mu bulago bwe obulungi, mmukozese emirimu egy'amaanyi. Ab'omu Buyudaaya balikabala, ab'omu Yisirayeli balikuba amavuunike. 12Nagamba nti: ‘Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, musige obutuukirivu, mukungule emikisa eginaava mu kunjagala. Kino kye kiseera mmwe okudda gye ndi nze Mukama. Nja kujja mbayiweko emikisa eginaabalokola.’#Laba ne Yer 4:3 13Naye musize ekibi ne mukungula ebibala byakyo. Mulidde ebibala eby'obulimba bwammwe, kubanga mwesiga amagaali gammwe, n'abatabaazi bammwe abangi. 14N'olwekyo olutalo lulisasamaza abantu bammwe, era ebigo byammwe byonna birizikirizibwa. Kiriba nga bwe kyali, Kabaka Salumaani bwe yazikiriza ekibuga Betirarubeeli mu lutalo, abakazi ne battibwa wamu n'abaana baabwe. 15Bwe kityo bwe kiriba ne ku mmwe abantu b'e Beteli, olw'ebibi byammwe ebyenkanidde awo obungi. Olutalo luliba lwakatandika, kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.