رفتن به محتوا

HOSEYA 7

7
1“Buli lwe njagala okuwonya abantu bange Abayisirayeli, kye ndaba gye misango gye bazza, n'ebibi ab'omu Samariya bye bakola. Bakolera ku bulimba. Bayingira mu mayumba ne babba, era n'ebweru banyaga ku bantu ebintu mu makubo. 2Tebakirowoozaako nti mmanyi ebibi byabwe byonna, sso ng'ebikolwa byabwe bibeetoolodde, era nga babikola mbiraba.”
Olukwe mu lubiri
3Mukama agamba nti: “Abantu basanyusa kabaka nga bakuusakuusa, era basanyusa abakungu be nga babalimbalimba. 4Bonna ba nkwe, era si beesigwa. Bali ng'akabiga akakumibwa omufumbi w'emigaati, akateetaaga kuseesaamu, okuva lw'amala okugoya obutta, okutuusa lwe buzimbulukuka. 5Ku lunaku kabaka lw'akola embaga, abanyoomi abo basiruwaza kabaka n'abakungu be, nga babatamiiza omwenge era nabo ne gubakwata. 6Ddala bengerera ng'akabiga nga bateesa okukola akabi. Obusungu bwabwe bwaka mpolampola ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka. 7Mu bbugumu ery'obusungu bwabwe, batemula abafuzi baabwe. Bakabaka baabwe bonna battiddwa, naye tewali muntu n'omu ansaba buyambi.”
Yisirayeli n'amawanga amalala
8Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'omugaati oguyiddeko oluuyi olumu. Beetaba n'ab'amawanga amalala, 9ne batamanya ng'okwetaba n'abagwira kubamalamu amaanyi, era ng'eggwanga lyabwe lizikirira. 10Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kwe kubalumiriza. Newaakubadde ebyo byonna bibaddewo, naye tebakomyeewo gye ndi nze Mukama, Katonda waabwe. 11Yisirayeli ali ng'ejjiba essirusiru eritalina magezi: abantu be, beegayirira Misiri abayambe, ate ne baddukira eri Assiriya. 12Naye buli gye baddukira, nja kubatega ekitimba kyange, mbakwase ng'ebinyonyi. Nja kubabonereza olw'ebibi byabwe.
13“Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Ka bazikirire, kubanga banjeemedde. Nayagala okubanunula, naye banjogerako bya bulimba. 14Tebaneegayiridde mu mazima, naye beekulukuunya ku ttaka ne bakaaba. Bettanira ŋŋaano na mwenge, ne banjeemera. 15Newaakubadde nga nze nabagunjula era ne mbawa amaanyi, naye era banneekobera. 16Badda eri ebyo ebitali Katonda. Bali ng'omutego omukyamu oguteesigika. Abakungu baabwe balittibwa olw'okwogera nga beewaana. Era balisekererwa mu nsi y'e Misiri.”