HOSEYA 6
6
Okwenenya kw'abantu okw'obukuusa
1Abantu bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama, kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya, ye yatufumita, era ye alitunyiga ebiwundu. 2Mu nnaku bbiri oba ssatu alituzzaamu obulamu ne tubeera balamu mu maaso ge. 3Tufube okumanya Mukama. Ajja kujja gye tuli awatali kubuusabuusa, ng'olunaku bwe lukya era ng'enkuba esooka mu mwaka bw'efukirira ettaka.”
4Naye Mukama agamba nti: “Yisirayeli ne Buyudaaya nnaabakola ntya mmwe? Kubanga okwagala kwe munjagalamu, kuggwaawo mangu ng'olufu lw'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo, nga bukyali nkya. 5Kyennaavanga ntuma abalanzi bange gye muli n'obubaka obubalumiriza omusango, era obubazikiriza. Kye mbaagaza kimanyiddwa bulungi. 6Njagala kisa, sso si bitambiro. N'okumanya Katonda, kusinga ebitone ebyokebwa.#6:6 ebitone ebyokebwa: Laba ne Matayo 9:13; 12:7#Laba ne Mat 9:13; 12:7
7“Naye nabo nga Adamu, baamenya endagaano gye nakola nabo. 8Gileyaadi kibuga ky'abo abakola ebibi era kijjudde ebitaba by'omusaayi. 9Bakabona bali ng'ekibinja ky'abanyazi abateega omuntu. Batemulira abantu mu kkubo erigenda a Sekemu. Ddala bakola ebiswaza. 10Ndabye eky'ekivve mu Yisirayeli: Abayisirayeli si beesigwa era boonoonese. 11Era nammwe ab'omu Buyudaaya, ntaddewo ekiseera eky'okubabonererezaamu olw'ebyo bye mukola.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.