رفتن به محتوا

HOSEYA 5

5
1“Muwulire kino mmwe bakabona,
muwulirize mmwe Abayisirayeli.
Mutege amatu mmwe
ab'ennyumba ya kabaka.
Musaliddwa omusango okubasinga mmwe,
kubanga mwafuuka omutego e Mizupa,
n'ekitimba ekyategebwa
ku Lusozi Tabori,
2era mwafuuka obuya
obwasimibwa e Sittimu.
Naye ndibabonereza mwenna.
3Mmanyi Yisirayeli nga bw'afaanana,
tayinza kunkisibwa.
Yisirayeli akoze eby'obutali bwesigwa
era ayonoonese.”
4Ebikolwa byabwe tebibaganya
kudda eri Katonda waabwe,
kubanga balimu omwoyo ogw'obutali bwesigwa,
era tebamanyi Mukama.
5Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli
kubalumiriza.
Baligwa olw'ebibi byabwe,
era n'abantu b'omu Buyudaaya
baligwa wamu nabo.
6Bwe baligenda okunoonya Mukama
baweeyo ebitambiro byabwe
eby'endiga n'ente,
tebalimuzuula,
kubanga abavuddeko.
7Tebabadde beesigwa eri Mukama,
era bazadde abaana abatali babe.
Kale kaakano
bajja kuzikirizibwa mangu
awamu n'ennimiro zaabwe.
Olutalo wakati wa Buyudaaya ne Yisirayeli
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya, n'ekkondeere mu Raama! Mulaye eŋŋoma mu Betaveni, muyite Benyamiini mu lutalo. 9Yisirayeli alisigala matongo ku lunaku olw'okuweerako ekibonerezo. Nnangirira mu bika bya Yisirayeli nti ebyo bigenda kutuukirira.
10Mukama agamba nti: “Abakungu ba Buyudaaya banyaze ebitundu bya Yisirayeli, ne bakyusa ensalo zaayo. Nja kubayiwako obusungu bwange, ng'abayiwako amazzi. 11Yisirayeli anyigirizibwa n'anyagibwako ebitundu bye, kubanga yakkiriza okukolera ku kiragiro eky'abo abatandimulagidde. 12Kyennaava nsanyaawo Yisirayeli, era ne mmalirawo ddala abantu b'omu Buyudaaya.
13“Yisirayeli bwe yalaba ng'alwadde, ne Buyudaaya bwe yalaba ebiwundu bye, Yisirayeli n'alaga mu Assiriya okusaba kabaka waayo amuyambe. Kyokka tayinza kubavumula, wadde okuwonya ebiwundu byabwe. 14Kubanga ndiba ng'empologoma, nnumbe Yisirayeli ne Buyudaaya. Nze mwene ndibataagulataagula ne nvaawo. Bwe ndiba nga mbawalabanya, tewaliba abawonya. 15Ndibaabulira, ne nzirayo gye mbeera, okutuusa lwe balikkiriza ensobi yaabwe ne bannoonya. Bwe balibonaabona, balifuba okunnoonya.”