رفتن به محتوا

HOSEYA 13

13
Yisirayeli esalirwa omusango ogw'enkomerero
1Ab'omu kika kya Efurayimu bwe baayogeranga, ab'omu Bika ebirala mu Yisirayeli baakankananga. Abeefurayimu baatiibwanga. Naye nga bwe baayonoona nga basinza Baali, bajja kufa. 2Era kaakano beeyongera bweyongezi okwonoona, nga bakola mu byuma ebisaanuuse, ebifaananyi nga bya kusinza. Bakola ebifaananyi mu ffeeza, ebiyiiyizibwa amagezi g'abantu, era ebikolebwa abantu. Awo ne balyoka bagamba nti: “Mubiwe ebitambiro.” Abantu bayinza batya okunywegera ebifaananyi bino eby'ennyana? 3N'olwekyo abantu bano, baliggwaawo nga kalenge ow'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali nkya. Baliba ng'ebisusunku, embuyaga y'akazimu by'eggya mu gguuliro n'ebitwala, era ng'omukka, oguyita mu kituli, ne gufuluma.
4Mukama agamba nti: “Nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. Temulina Katonda mulala, wabula nze. Nze Mulokozi wammwe nzekka. 5Nabalabirira nga muli mu nsi enkalu ey'eddungu.#Laba ne Ma 8:11-17 6Naye bwe mwayingira mu nsi ennungi, ne mulya ne mukkuta, olwo mwekulumbaza ne munneerabira. 7Kale ndibalumba ng'empologoma bw'erumba. Ndibateega mu kkubo ng'engo bw'eteega. 8Ndibalumba ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, ne mbayuzaamu. Ndibataagulataagula ng'ensolo ey'omu ttale, era ndibaliirawo ng'empologoma.
9“Ndibazikiriza mmwe Abayisirayeli. Ani aliyinza okuyamba? 10Mwasaba okubawa kabaka n'abakulembeze. Naye banaayinza batya okubawonya mmwe?#Laba ne 1 Sam 8:5-6 11Nabawa bakabaka nga nsuguwadde, era ne mbabaggyako nga ndiko ekiruyi.#Laba ne 1 Sam 10:17-24; 15:26
12“Ekibi n'omusango ebya Yisirayeli bisibiddwako era biterekeddwa. 13Yisirayeli aweereddwa omukisa abe mulamu, naye talina magezi kugukozesa. Ali ng'omwana atuusizza okuzaalibwa, agaana okufuluma mu lubuto lwa nnyina. 14Sirinunula bantu bano mu magombe, wadde okubawonya okufa. Ggwe Walumbe, leeta ebibonyoobonyo byo!#Laba ne 1 Kor 15:55 15Abayisirayeli ne bwe baliba obulungi mu baganda baabwe, nze Mukama ndisindika embuyaga ey'ebuvanjuba eva mu ddungu, n'ekaza ensulo zaabwe n'enzizi zaabwe. Erimalawo ebyobugagga byonna bye baatereka. 16Ab'omu Samariya bajja kubonerezebwa olw'okujeemera nze Katonda waabwe. Bajja kufiira mu lutalo. Abaana baabwe abawere bajja kutirimbulwa, n'abakazi abali embuto bajja kubaagibwa.”