HOSEYA 14
14
Hoseya abuulirira Yisirayeli
1Mmwe Abayisirayeli, mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ebibi byammwe bibaleetedde okwesittala ne mugwa. 2Mujje nga muteeseteese okwegayirira kwammwe, mudde eri Mukama, mumugambe nti: “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, osanyukire ebirungi, tulyoke tusobole okukutendereza. 3Assiriya teyinza kutuwonya, era tetujja kwebagala mbalaasi za lutalo. Bye twakola n'emikono gyaffe tetukyaddayo kubiyita Katonda waffe, kubanga ggwe okwatirwa ekisa abo abatalina abayamba.”
Mukama asuubiza Yisirayeli obulamu obuggya
4Mukama agamba nti:
“Ndikomyawo abantu bange gye ndi.
Ndibaagala n'omutima gwange gwonna,
kubanga sikyabalinako busungu.
5Ndinnyikiza Abayisirayeli
ng'enkuba bw'ennyikiza ettaka.
Balyanya ng'ebimuli,
balisimba emirandira mu ttaka,
ng'emiti gy'oku Lebanooni.
6Amatabi gaabwe galyagaagala,
ne banyirira ng'omuti omuzayiti#14:6 ng'omuti omuzayiti: Oba “Ng'omuti gw'oliva”.
Baliwunya akawoowo,
ng'emiti egy'oku Lebanooni.
7Balikomawo ne babeera
mu kisiikirize kyange.
Balyanya ng'eŋŋaano,
ne bamulisa ng'omuzabbibu.
Balyatiikirira ng'omwenge
ogw'e Lebanooni.
8Abayisirayeli tebaliddayo
kusinza bifaananyi:
nnaabawanga bye bansaba,
era nnaabalabiriranga.
Nnaabawanga ekisiikirize
ng'omuti ogutaggwaako makoola.
Nze nsibukamu
emikisa gyabwe gyonna.”
Okufundikira
9Abalina amagezi bategeere ebyo, era babyekkaanye, kubanga Mukama by'akola bituufu, era abantu abakola ebituufu banaabigobereranga. Naye aboonoonyi baneesittalanga ne bagwa, kubanga tebabifaako.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.