رفتن به محتوا

HOSEYA 12

12
Yisirayeli ne Buyudaaya zisalirwa omusango
1“Abayisirayeli bagoba mpewo olunaku lwonna, bawondera mbuyaga y'ebuvanjuba. Beeyongera kukola bya bulimba na bya bukambwe. Bakola endagaano ne Assiriya, era batwala omuzigo mu Misiri.”
2Mukama alina ky'avunaana abantu ab'omu Buyudaaya, era ajja kubonereza Yisirayeli, olw'engeri abantu baayo gye beeyisaamu. Ajja kubasasula olw'ebyo bye bakola. 3Jjajjaabwe Yakobo yalwana ne muganda we Esawu, nga bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe. Yakobo bwe yakula, n'alwanyisa Katonda.#Laba ne Nta 25:26#Laba ne Nta 32:24-26 4Yalwana ne malayika, n'awangula. Yakaaba n'asaba okumuwa omukisa. E Beteli, Katonda yasisinkana Yakobo, era eyo gye yayogerera naffe.#Laba ne Nta 28:10-22 5Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, erinnya lye ye Mukama. 6Kale mmwe bazzukulu ba Yakobo, mukyuke mudde eri Mukama, era mumwesige. Mubeerenga ba kisa era ba mazima. Bulijjo mwesigenga Katonda wammwe.
7Mukama agamba nti: “Abayisirayeli si beesigwa. Bali ng'omusuubuzi akozesa minzaani eteri ntuufu, ayagala okunyaga. 8Bagamba nti: ‘Tuli bagagga, twefunidde ebintu. Tewali ayinza kutulumiriza nti twagaggawala mu bukumpanya.’ 9Naye nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndiddamu okubasuza mu nsiisira, nga ze mwalimu, bwe najja gye muli mu ddungu.#Laba ne Leev 23:42-43
10“Nayogeranga n'abalanzi, era ne mbongera okulabikirwa, era ne ndabula abantu bange, nga mpita mu balanzi. 11Abakola ebibi mu Gilugaali, gye basalira ente ennume ez'ebitambiro, zaalutaari zaabwe zirifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.”
12Yakobo yaddukira mu nsi ya Aramu. Era okusobola okuwasaayo omukazi, yakolera omuntu omulala, n'amulundira endiga ze.#Laba ne Nta 29:1-20 13Mukama yatuma omulanzi okuggya Abayisirayeli mu buddu mu Misiri, n'okubalabirira.#Laba ne Kuv 12:50-51 14Abayisirayeli basunguwazizza nnyo Mukama. Basaanira kufa, olw'emisango gye bazza. Mukama alibabonereza olw'okumunyooma.