رفتن به محتوا

HOSEYA 11

11
Katonda ayagala abantu be
1Mukama agamba nti: “Yisirayeli bwe yali ng'akyali mwana muto, namwagala, ne mmuyita okuva e Misiri, nga mwana wange#11:1 ne mmuyita… nga mwana wange: Oba “Okuva lwe yava e Misiri namuyita mwana wange.”.#Laba ne Kuv 4:22; Mat 2:15 2Naye gye nakoma okubayita, gye baakoma okunvaako. Baawaayo ebitambiro eri Baali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. 3Sso nga nze nayigiriza Yisirayeli okutambula. Nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaategeera nga nze nabalabirira. 4Nabasika n'ekisa era n'okwagala bajje gye ndi. Nabasitula ne mbawambaatira ng'awambaatira omwana omuto, nakutama ne mbaliisa.
5“Baliddayo mu nsi y'e Misiri, era Assiriya ye alibafuga, kubanga baagaana okudda gye ndi. 6Olutalo luligwa mu bibuga byabwe, ne lumenya enzigi zaabyo, ne lubazikiriza, kubanga baakola ebyo bo bennyini bye baagala. 7Abantu bange bamaliridde okunvaako. Balikaaba olw'ekikoligo ekibaliko, naye tewaliba akibaggyako.
8“Nnaakuwaayo ntya Yisirayeli?
Nnaakwabulira ntya?
Nnaakuzikiriza ntya
nga bwe nazikiriza Aduma,
wadde okukuyisa
nga bwe nayisa Zeboyiimu?
Omutima gwange teguŋŋanya kukikola,
kubanga mpulira nkwagala nnyo.#Laba ne Ma 29:23
9“Sirikubonereza nga nsunguwadde.
Siriddayo kuzikiriza Yisirayeli,
kubanga ndi Katonda
sso si muntu.
Nze Omutuukirivu
ndi wamu naawe.
Sirijja gy'oli
nga nsunguwadde.
10“Abantu bange balingoberera nze Mukama, bwe ndiwuluguma ng'empologoma. Balyanguwa okujja gye ndi, nga bava ebugwanjuba. 11Baliva mu Misiri, nga banguwa ng'ebinyonyi, era ng'ejjiba, nga bava mu Assiriya, era ndibazzaayo mu maka gaabwe. Nze Mukama nze njogedde.”
12Mukama agamba nti: “Abayisirayeli banneetooloozezza obulimba n'obukuusa. Naye abantu b'omu Buyudaaya nkyabamanyi nze Katonda, era beesigwa gye ndi nze Omutuukirivu.