رفتن به محتوا

OMUBUULIZI 7

7
1Erinnya eddungi lisinga omuzigo ogw'akawoowo, n'olunaku omuntu lw'afiirako, lulungi okusinga lw'azaalibwa.#Laba ne Nge 22:1
2Okuyingira mu nnyumba mwe bakungubagira afudde, kisinga okuyingira mu nnyumba mwe bagabulira obugenyi, kubanga okufa ye nkomerero ya bonna, era kirungi abalamu okugirowoozangako.
3Okulaba ennaku kugasa okusinga okusanyuka, kubanga ennaku ebangula omutima gw'omuntu.
4Omuntu omugezi afuna ekiseera okulowooza ku nnaku ye, naye omusiru yeemalira mu binyumu.
5Okunenyezebwa abagezi kusinga okutendebwa abasiru, 6kubanga enku ez'amaggwa nga bwe zitulikira mu kyoto wansi w'entamu, n'okuseka kw'omusiru bwe kutyo bwe kuba: tekubaamu makulu.
7Okunyigiriza abantu, omugezi kumufuula musiru, n'enguzi emalamu omuntu okutegeera.
8Ekintu ekiwedde obulungi, kisinga ekitandika obutandisi, n'omugumiikiriza asinga omwekuza.
9Toyanguwanga kusunguwala, kubanga omusiru ye abeera n'obusungu.#Laba ne Yak 1:19
10Tobuuzanga nti: “Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi okusinga bino ebiriwo kati?” Ekyo si kibuuzo kya magezi.
11Amagezi malungi ng'okusikira ebintu, era abalamu bonna gabagasa, 12kubanga amagezi kigo ekikuuma omuntu ng'ensimbi bwe zimukuuma. Naye okumanya kyekuva kusinga omugaso, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13Lowooza ku ebyo Katonda bye yakola. Ani ayinza okugolola ekyo ye kye yaweta? 14Ebintu lwe bigenze obulungi, sanyuka; ate lwe bigenze obubi, manya nga Katonda ye ataddewo ebyo byombi, abantu baleme kutegeera bigenda kubaawo.
15Bino byombi mbirabidde mu bulamu bwange obutaliimu makulu: abantu abalungi bafa mangu, ate ababi ne bawangaala. 16N'olwekyo toyitirizanga kuba mulungi, wadde omugezi. Kale oba wettira ki? 17Wabula era toyitirizanga kuba mubi wadde omusiru, oleme kufa ng'ekiseera kyo tekinnatuuka. 18Kirungi weefugenga mu ebyo byombi, kubanga oyo atya Katonda, talema kubyewala.
19Alina amagezi, gamufuula wa maanyi okusinga abafuzi kkumi abali mu kibuga.
20Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere, n'atayonoona.
21Tossangayo mwoyo ku buli kimu abantu kye boogera, sikulwa ng'owulira n'omuddu wo ng'akwekokkola, 22kubanga omanyi bulungi nga naawe emirundi mingi weekokkola abalala.
23Ebyo byonna nabigezesa nga nkozesa amagezi gange, ne ŋŋamba nti: “Mmaliridde okuba omugezi.” Naye amagezi ne sigatuukako. 24Buli ekiriwo, kisukkiridde amagezi gaffe. Tetuyinza kukitegeerera ddala kukimalayo. Ani ayinza okukinoonyerezaako, n'akikomekkereza? 25Nneemalira ku kunoonya, n'okwekkaanya, n'okumanya amagezi, n'okutegeera ebintu nga bwe biri, era n'okumanya ng'okuba omubi kya busiru, era ng'obusiru ddalu.
26Era nalaba ekikakali okusinga olumbe kattira: ye mukazi. Okwagala kw'akulaga, kukukwata ng'omutego oba ng'ekitimba. Emikono gye gy'akuwambaatiza, gikusiba ng'enjegere. Oyo akola ebyo Katonda by'asiima, ye aliwona omukazi, kyokka oyo atali mwegendereza, aliwambibwa. 27Omubuulizi agamba nti: “Ekyo nakituukako nga nkubaganya nzekka ebirowoozo, okuzuula ekituufu.” 28Kye nayagala okumanya, naye nga sinnakizuula kye kino: mu bantu olukumi, nalabamu omusajja omu asaanira, naye mu abo bonna, omukazi simulabangamu. 29Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda abantu nga batereevu, naye bo ne beegunjirawo obukyamu obwa buli ngeri.