رفتن به محتوا

OMUBUULIZI 6

6
1Waliwo ekintu ekibi kye nalaba ku nsi, era ekikaluubirira abantu: 2kye ky'omuntu Katonda gw'awa obugagga, n'ebintu, n'ekitiibwa, ne watabaawo muntu oyo ky'ajula, kyokka Katonda n'atakkiriza muntu oyo kubyeyagaliramu, wabula omuntu omulala ow'ebweru n'abyeyagaliramu. Ekyo tekiriimu makulu, era kiruma nnyo. 3Omuntu ayinza okuzaala abaana kikumi, era n'amala emyaka mingi ku nsi. Kyokka ne bw'awangaala atya, bw'aba tafunye ssanyu mu bulamu bwe, era nga taziikiddwa mu ngeri esaanidde, nze ŋŋamba nti omwana azaalibwa ng'afudde, asinga omuntu oyo. 4Omwana oyo weewaawo talina ky'agasibwa okuzaalibwa. Azaalibwa ng'ali mu kizikiza, n'agenda ng'ali mu kizikiza. 5Wabula newaakubadde aba talabye kitangaala, era nga takitegedde, aba awummudde okusinga oli, 6atasanyukidde mu birungi, wadde ng'awangadde emyaka enkumi bbiri. Ye n'ekirala, bombi tebagenda mu kifo kye kimu?
7Omuntu mu mirimu gye gyonna, ateganira kufuna kyakulya, wabula okwegomba kwe tekumatira. 8Omuntu ow'amagezi kiki ky'asingamu omusiru? N'omwavu kimugasa ki okuba omwegendereza? 9Okumatira ne ky'olabako, kusinga okululunkanira bye weegomba obwegombi. Ekyo tekiriimu makulu, kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
10Buli kyali kibaddewo, kyatuumibwa dda erinnya. N'embeera y'abantu emanyiddwa: omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. 11Ebyogerwa gye bikoma obungi, gye bikoma n'obutabaamu makulu, kale omuntu bimugasa ki? 12Ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe obumpi obutaliimu makulu, era obuyita obuyisi ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebiribaawo ku nsi, omuntu oyo ng'amaze okugivaako?