رفتن به محتوا

OMUBUULIZI 8

8
1Ani yenkana omugezi? Oba ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi ganyiriza entunula y'omuntu, n'obunyiikaavu bwe bwonna ne buggwaawo.
Okuwulira Kabaka
2Nze ŋŋamba nti gonderanga ekiragiro kya kabaka, kubanga bw'otyo bwe walayirira Katonda. 3Toyanguyirizanga kweggya ku kabaka, era tobeeranga ku ludda lwa bamuwakanya, kubanga kabaka ayinza okukola buli ky'ayagala. 4Kabaka ky'alagira, tekiddibwamu, era tewali ayinza kumubuuza nti: “Lwaki olagidde bw'otyo?” 5Abagondera ekiragiro kye, tebatuukibwako kabi, era omuntu omugezi, amanya obudde obutuufu, n'engeri esaanira okukituukiririzaamu. 6Kubanga buli kintu kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu okukikoleramu, newaakubadde ng'omuntu aba n'obuzibu bungi, 7kubanga tamanya bigenda kubaawo, era tewali ayinza kumutegeeza we biribeererawo. 8Tewali muntu alina buyinza kwesigaliza bulamu bwe, era tewali alina buyinza kusalawo lunaku lw'alifiirako. Ng'olutalo bwe lutaganya muntu kuluvaamu, n'ekibi bwe kityo tekita oyo akyewadde.
9Ebyo byonna nabiraba nga ndowoolereza ku byonna abantu bye bakola ku nsi, nga ndaba abantu bwe bafugisa bannaabwe obukambwe ne babalumya.
10N'ekirala, abantu ababi, kyokka abaagendanga emirundi emingi mu Kifo Ekitukuvu, nalaba nga baziikibwa mu kitiibwa era nga tebajjukirwa nti baali babi mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga eby'effujjo. Kale n'ekyo tekiriimu makulu.
11Ekibonerezo ekisalirwa akoze ekikolwa ekibi bwe kitaweebwa mangu, abantu beeyongerera ddala okukola ebibi. 12Omwonoonyi newaakubadde akola ebibi emirundi kikumi n'awangaala nnyo, kyokka era mazima mmanyi ng'abatya Katonda, abamussaamu ekitiibwa, be banaabeeranga obulungi. 13Naye omubi taabenga bulungi, era obulamu bwe, bunaayitanga mangu nga kisiikirize. 14Waliwo era ekirala ekitaliimu makulu ekibaawo ku nsi: abantu abalungi okuweebwa ekibonerezo ekyandiweereddwa abakoze ebibi, n'abantu ababi okuweebwa empeera eyandiweereddwa abakoze ebirungi. Ekyo nakyo ŋŋamba nti tekiriimu makulu.
15N'olwekyo nsemba okwesanyusa, kubanga omuntu talina kirungi kirala ku nsi, okuggyako okulya, n'okunywa, n'okusanyuka, kubanga eryo, lye ssanyu ly'alibeera nalyo mu kutegana kwe, ekiseera kyonna eky'obulamu bwe, Katonda bw'amuwa ku nsi.
16Bwe nafuba ennyo okufuna amagezi, n'okumanya emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, nalaba ng'omuntu ayinza okumalako olunaku n'ekiro kyonna nga teyeebase, 17n'atasobola kutegeera ebyo byonna Katonda by'akola. Ne bw'ategana atya okunoonyereza, tayinza kubizuula. Abantu abagezi bayinza okugamba nti babimanyi, naye mu mazima tebabimanyi.