رفتن به محتوا

OMUBUULIZI 5

5
Toyanguyirizanga kusuubiza
1Weegenderezenga ng'oyingidde mu Ssinzizo. Okusembera okumpi n'owuliriza oyige, kisinga okumala gawaayo bitambiro ng'abatategeera bwe bakola, kubanga tebamanyi nga kye bakola kibi. 2Ofuganga olulimi lwo, era toyanguyirizanga kubaako ky'oyogera mu maaso ga Katonda, kubanga Katonda ali mu ggulu, ggwe oli ku nsi. Kale ebigambo byo bibeerenga bitono, 3kubanga omuntu by'atawaanamu, by'aloota. N'omusiru amanyirwa ku bingi by'ayogera. 4Bw'obangako kye weeyamye eri Katonda, oyanguwanga okukituukiriza, kubanga Katonda tasanyukira basiru. Tuukirizanga kye weeyamye okukola.#Laba ne Zab 66:13-14 5Waakiri oleme kweyama, okusinga lwe weeyama n'ototuukiriza. 6Toganyanga kamwa ko kukukozesa kibi, oluvannyuma n'ogamba omubaka wa Katonda nti wayogedde togenderedde. Lwaki oyogera ebinaasunguwaza Katonda n'azikiriza bye wakolerera! 7Okulowooza ebingi ng'oli ng'aloota, kye kireetera omuntu okwogera ebitaliimu makulu. Naye ggwe otyanga Katonda. 8Bw'olabanga abaavu nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga, kubanga omukungu atunuulirwa oyo amusinga, era n'oyo n'atunuulirwa abo abamusinga okuba n'obuyinza. 9Okutwalira awamu, ettaka ligasa bonna, ne kabaka yennyini aganyulwa ebiva mu nnimiro.
10Omuntu ayagala ensimbi tayinza kuzikkuta, era n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba gaamu, taabikkutenga. Era n'ekyo tekiriimu makulu. 11Ebintu bwe byeyongera okwala, n'abo ababirya beeyongera okuba abangi. Kale bannyini byo bafunamu magoba ki, okuggyako okubirabako obulabi n'amaaso! 12Omuntu akola n'emikono gye, yeebaka otulo ne tumuwoomera, ne bw'aba talina byakulya bimumala; kyokka omugagga asula teyeebase, ng'alowooza.
13Waliwo ekintu ekibi ennyo kye ndabye ekibeerawo mu nsi: bwe bugagga obuterekebwa nnyini bwo mu kwerumya okungi, 14kyokka obugagga obwo ne buzikirira olw'ebizibu ebitaalengererwawo, n'azaala omwana nga tewakyali ky'alinawo. 15Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliva ku nsi nga bwe yajja. Talibaako ky'ayinza kutwala ku bye yateganira byonna.#Laba ne Yob 1:21; Zab 49:17; 1 Tim 6:7 16Mazima ekyo si kya bwenkanya. Omuntu agenda ngalo nsa nga bwe yajja. Ategana, kyokka ali ng'agoba empewo agikwate! Kale magoba ki g'afuna? 17Ennaku ze zonna, alya munyiikaavu, yeeraliikirira nnyo, aba mulwadde, era musunguwavu.
18Ekirungi kye nalaba omuntu ky'asaanidde okukola, kwe kulya n'okunywa era n'okusanyukira mu birungi byonna bye yateganira obulamu bwe bwonna, Katonda bwe yamuwa ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo gwe. 19Buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubiryako, n'akkiriza omugabo gwe, n'okusanyukira mu by'ateganidde, ekyo kirabo kya Katonda, 20kubanga omuntu oyo tajja kulowoozanga ku kiseera kya bulamu bwe, kubanga Katonda amukuuma nga musanyufu mu mutima gwe.