OMUBUULIZI 4
4
1Bwe nava ku ebyo, ne ndowooza ku butali bwenkanya obuli mu nsi. Abanyigirizibwa bakaaba amaziga, ne batafuna abayamba. Tebafuna abayamba, kubanga abo ababanyigiriza be bali mu buyinza. 2Ekyo kyandeetera okulowooza nti abafu abaafa edda, beesiimye okusinga abo abakyali abalamu. 3Naye eyeesiimye okusinga abo ab'emirundi egyo gyombi, ye oyo atabangawo, atalabanga bibi ebikolebwa ku nsi.
4Era nalowooza ku kikozesa abantu emirimu: bakola nnyo kubanga beegomba okufuna ebirungi ebiri ng'ebya bannaabwe, oba n'ebisingawo. Naye n'ekyo temuli makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate. 5Omusiru azinga emikono, ne yessa enjala. 6Okufuna ebijjuza olubatu olumu ng'olina emirembe, kisinga okufuna ebijjuza embatu ebbiri ng'otegana, ng'oli ng'agoba empewo ogikwate.
7Awo ne nziramu okulowooza ku birala ebitaliimu mugaso ku nsi. 8Wabaawo omuntu abeera yekka nga talina mwana wadde owooluganda, sso ng'akola obutaweera, era nga tamatira na bugagga bw'alina. Kale mba nteganira ani okwenkana awo, ne nemma okusanyukako? Kino nakyo tekiriimu makulu, era kwerumya bwerumya!
9Abantu ababiri basinga omuntu omu, kubanga bwe bakolera awamu, bayambagana. 10Bwe bagwa, omu ayamba munne okuyimuka. Naye omuntu bw'aba yekka, n'agwa, ziba zimusanze, kubanga tewaba amuyamba kuyimuka. 11Mu budde obw'empewo, ababiri bwe beebaka awamu mu buliri, babuguma; naye omu yekka ayinza atya okubuguma! 12Abantu ababiri basobola okulwanyisa omulabe eyandiwangudde omuntu omu ng'alwana yekka, n'omuguwa ogw'emiyondo esatu si mwangu kukutula.
13Omuvubuka omwavu naye nga mugezi, asinga kabaka omukadde atalina magezi era atakyayagala kubuulirirwa. 14Omuntu ayinza okuzaalibwa mu nsi ye nga mwavu oba okuva mu kkomera, n'afuuka kabaka. 15Nalaba abantu bonna ku nsi nga bali wamu n'omuvubuka omulala eyadda mu bigere bya kabaka. 16Kabaka ayinza okuba n'abantu abangi b'afuga, naye bw'akisa omukono, tewali ajjukira birungi bye yakola. Kino nakyo tekiriimu makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.