OMUBUULIZI 3
3
Buli kintu kirina ekiseera kyakyo
1Buli kintu ekibeerawo ku nsi,
kiba n'obudde bwakyo,
na buli ekikolebwa,
kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu.
2Ekiseera eky'okuzaalirwamu,
n'ekiseera eky'okufiiramu;
ekiseera eky'okusimbiramu
n'ekiseera eky'okusimbuliramu
3ekiseera eky'okuttiramu
n'ekiseera eky'okuwonyezaamu;
ekiseera eky'okumenyeramu,
n'ekiseera eky'okuzimbiramu;
4ekiseera eky'okukaabiramu amaziga,
n'ekiseera eky'okusekeramu;
ekiseera eky'okukungubagiramu,
n'ekiseera eky'okuziniramu;
5ekiseera eky'okusaasaanyizaamu amayinja,
n'ekiseera eky'okukuŋŋaanyizaamu amayinja;
ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba,
n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba;
6ekiseera eky'okuzuuliramu,
n'ekiseera eky'okubulirwamu,
ekiseera eky'okukuumiramu ekintu,
n'ekiseera eky'okusuuliramu ekintu;
7ekiseera eky'okuyulizaamu,
n'ekiseera eky'okutungiramu;
ekiseera eky'okusirikiramu,
n'ekiseera eky'okwogereramu;
8ekiseera eky'okwagaliramu,
n'ekiseera eky'okukyayiramu;
ekiseera eky'olutalo,
n'ekiseera eky'emirembe.
9Magoba ki omuntu g'afuna mu by'ateganira? 10Nalaba okutegana Katonda kwe yateerawo abantu okuteganangamu. 11Yakola buli kintu, nga kigya bulungi mu kiseera kyakyo. Abantu yabateekamu omutima ogwagala okumanya ebyaliwo, n'ebiriwo, n'ebiribaawo, kyokka n'atabawa kumanya ye Katonda by'akola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero. 12Mmamyi nga tewali kigasa muntu okusinga okusanyuka n'okukola ebirungi ennaku zonna ez'obulamu bwe. 13Era omuntu okulya n'okunywa n'okusanyukira mu birungi by'ateganidde, kiba kirabo kya Katonda.
14Mmanyi nga buli kintu Katonda ky'akola, kibeerawo ennaku zonna, era tewali kiyinza kukyongerwako, wadde okukikendeezebwako. Katonda yakola bw'atyo, abantu balyoke bamussengamu ekitiibwa. 15Ebiriwo byali bibaddewo, era n'ebiribaawo byali bibaddewo edda. Katonda alagira ebyali bibaddewo ne biddamu okubaawo.
Obutali bwenkanya obuli mu nsi
16Era nalaba nga ku nsi awandibadde amazima n'obwenkanya, wabeerawo bikolwa bibi. 17Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda alisalira abalungi n'ababi omusango, kubanga buli kintu na buli kikolwa kiba n'ekiseera kyakyo. 18Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda ageza abantu, alyoke abalage nti nabo bennyini bali ng'ebisolo, 19kubanga ekituuka ku bantu kye kimu ekyo era ekituuka ku bisolo. Ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'atyo bw'afa, era omukka omuntu gw'assa, n'ensolo gw'essa, ne kiraga nti omuntu talina nkizo ku nsolo, era obulamu bw'omuntu n'obw'ensolo tebuliimu makulu. 20Byombi, omuntu n'ensolo, bidda mu kifo kye kimu: mu nfuufu mwe byava. Byava mu nfuufu, era bigenda kudda mu nfuufu. 21Ani amanyi oba ng'omwoyo gw'omuntu gwambuka waggulu, ate nga ogw'ensolo gwo gukka wansi mu ttaka? 22N'olwekyo, neetegerezza ne ndaba ng'ekisinga obulungi, omuntu kwe kusanyukira mu ebyo by'akoze, kubanga eyo ye mpeera ye, kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo, ye ng'amaze okuvaawo?
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.