OMUBUULIZI 2
2
1Nalowooza mu mutima gwange nti: “Kale nno ka ngezeeko ebinyumu, nneesanyuse.” Naye ne ndaba nga n'ekyo temuli makulu. 2Nagamba nti: “Okudda awo okusekereza, ddalu jjereere, n'amasanyu tegalina kalungi kagavaamu.” 3Era mu kunoonya amagezi, aganaaluŋŋamya omutima gwange, nalowooza ku ky'okwesanyusa nga nnywa omwenge, mmalirewo ebiseera byange, nga ndowooza nti oboolyawo ekyo abantu kye bagwanira okukola ku nsi ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
4Neekolera ebintu ebikulu: nazimba amayumba, nasimba ennimiro z'emizabbibu.#Laba ne 1 Bassek 10:23-27; 2 Byom 9:22-27 5Nalima ensuku n'ennimiro, ne nsimbamu emiti egy'ebibala ebya buli ngeri. 6Nasima ebidiba by'amazzi okufukiriranga ekibira mwe gyasimbibwa. 7Nagula abaddu n'abazaana, era n'abamu baazaalirwa mu maka gange. Nalina amagana mangi ag'ente n'endiga n'embuzi okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu.#Laba ne 1 Bassek 4:23 8Nakuŋŋaanya ffeeza ne zaabu n'ebyobugagga ebirala bingi okuva mu matwale ge nfuga, era neeteekerawo abasajja n'abakazi abaakolanga ogw'okunnyimbira ennyimba, era nalina byonna ebiyinza okusanyusa omuntu.#Laba ne 1 Bassek 10:10,14-22
9Nali waakitiibwa nnyo okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu, era nasigala nga ndi mugezi.#Laba ne 1 Byom 29:25 10Buli kintu kye neegombanga, nakyetuusangako. Siriiko ssanyu na limu lye nagaana kwewa. Nasanyukira byonna bye nakola, era ekyo ne kiba omugabo gwange olwa byonna bye nakola. 11Ebyo nga biwedde, natunuulira ebyo byonna bye nali nkoze, era n'okutegana kwange kwonna, ne ndaba nga byonna kwali kuteganira bwereere. Ddala kwali nga kugoba mpewo ogikwate. Ate ndaba nga ku nsi kuno tewali kintu na kimu kirina mugaso. 12Bwe nava awo, ne ngeraageranya amagezi n'eddalu n'obusiru, kubanga kabaka talina kipya ky'ayinza kukola ekitaakolebwa dda bakabaka abaamusooka. 13Awo ne ndaba ng'amagezi malungi okusinga obusiru, ng'ekitangaala bwe kiri ekirungi okusinga ekizikiza. 14Omuntu omugezi alaba gy'agenda, naye omusiru atambulira mu kizikiza. Wabula era mmanyi ng'enkomerero yaabwe ye emu. 15Olwo ne ndowooza mu mutima gwange nti: “Ekituuka ku musiru, nange kye kirintuukako. Kale nze nabeerera ki omugezi?” Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti n'ekyo tekiriimu mugaso. 16Omugezi tajjukirwa, era ng'omusiru bw'atajjukirwa mirembe gyonna, kubanga byonna ebiriwo kati biryerabirwa mu biseera ebigenda okujja, era buli muntu alifa, k'abe mugezi oba musiru. 17Ekyo kyankyayisa obulamu, kubanga byonna ebikolebwa ku nsi byantama. Byonna tebiriimu mugaso, era biri nga kugoba mpewo ogikwate.
18Awo ne nkyawa byonna bye nali nkoze ku nsi, kubanga ndi wa kubirekera oyo alinziririra. 19Era ani amanyi oba ng'oyo aliba mugezi oba aliba musiru? Kyokka oyo ye alyefuga byonna bye nakola ku nsi, era bye nayolesezaamu amagezi gange. Era n'ekyo tekiriimu mugaso. 20N'olwekyo natuuka n'okwejjusa nti: “Natawaanira ki bwe ntyo ku nsi!” 21Kubanga omuntu ayinza okukola emirimu n'amagezi n'obukugu era n'obwegendereza, kyokka byonna by'akoze n'abirekera muntu mulala atabiteganidde. Ekyo nakyo tekiriimu mugaso, era kibi nnyo. 22Kale omuntu afuna ki mu kufuba kwe n'okutegana kwe kw'ateganamu ku nsi? 23Kubanga ekiseera kyonna eky'obulamu bwe akimala mu buyinike bwereere, na mu kweraliikirira, n'atawummula emisana n'ekiro. N'ekyo nakyo tekiriimu mugaso.#Laba ne Yob 5:7; 14:1
24Ekisinga okugasa omuntu kwe kulya n'okunywa n'okwesanyusiza mu ebyo by'akoleredde. Era n'ekyo nalaba ng'okusobola okukikola, guba mukisa Katonda gw'awa omuntu.#Laba ne Mub 3:13; 5:17; 9:7; Yis 56:12; Luk 12:19; 1 Kor 15:32 25Kubanga Katonda w'atali, ani ayinza okulya n'okusanyuka#2:25 kubanga…n'okusanyuka: Mu Lwebureeyi, “Kubanga ani ayinza okulya oba ani ayinza okusanyuka okusinga nze?”? 26Katonda, abamusanyusa abawa amagezi n'okutegeera era n'essanyu, kyokka aboonoonyi abawa gwa kukuŋŋaanya na kutereka bugagga, babuwe abo abamusanyusa. Era n'ekyo tekiriimu mugaso, kiri nga kugoba mpewo ogikwate.#Laba ne Yob 32:8; Nge 2:6
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.