رفتن به محتوا

OMUBUULIZI 1

1
1Bino bye bigambo by'Omubuulizi eyali mutabani wa Dawudi, era nga kabaka mu Yerusaalemu. 2Omubuulizi oyo agamba nti tewali kirimu makulu, ddala byonna temuli makulu. 3Magoba ki omuntu g'afuna mu kutegana kwe kwonna kw'ateganira ku nsi? 4Omulembe gugenda, omulembe omulala ne gujja, kyokka yo ensi ebeerawo ennaku zonna. 5Enjuba evaayo, era n'egwa, ne yeeyuna okudda mu kifo kyayo gy'eva. 6Empewo ekunta ng'edda ebukiikaddyo, n'ekyuka n'edda ebukiikakkono, ne yeetooloola ng'ekunta, n'edda gye yavudde. 7Emigga gyonna gikulukuta giyiwa mu nnyanja, kyokka ennyanja tejjula. Emigga gye giyiwa amazzi gaagyo, era eyo gye gyongera okuyiwa. 8Ebintu byonna bikooya, bireetera omuntu okwetamwa mu ngeri eteyogerekeka. Amaaso tegakkuta kulaba, n'amatu tegakkuta kuwulira. 9Ebyali bibaddewo bye binaddangamu okubaawo, era ebyali bikoleddwa bye binaddangamu okukolebwa. Tewali kintu kipya ku nsi. 10Waliwo ekintu kye bayinza okwogerako nti: “Laba kino kipya?” Tekiba kipya, kiba kyabaawo dda mu mirembe egy'edda, ffe nga tetunnabaawo. 11Eby'edda tebijjukirwa, era n'ebyo ebirijja tebirijjukirwa abo abalibaawo nga byo bimaze okubaawo.
Ebyatuuka ku Mubuulizi
12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Yisirayeli mu Yerusaalemu. 13Nassaayo nnyo omwoyo, ne nkozesa amagezi gange okunoonyereza n'okwetegereza byonna ebikolebwa ku nsi, ne nzuula nga byonna gwe mulimu omuzibu era omukalubo, Katonda gwe yateerawo abantu.
14Natunuulira emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, ne ndaba nga gyonna gikooyeza bwereere, era okugikola, kuba nga kugoba mpewo ogikwate. 15Ekikyamye tekiyinza kugololwa, n'ebitaliiwo tebiyinza kubalibwa. 16Nalowooza mu mutima gwange nti: “Nfuuse muntu waakitiibwa nnyo, era omugezi okusinga bonna abansooka okufuga mu Yerusaalemu. Ddala nfunye amagezi mangi era n'okutegeera.”#Laba ne 1 Bassek 4:29-31 17Nassaayo nnyo omwoyo okumanya ebifa ku magezi, n'okumanya ebifa ku ddalu n'obusiru, ne ndaba nga nabyo kuba nga kugoba mpewo ogikwate. 18Kubanga gy'okoma okuba n'amagezi amangi, gy'okoma n'okusoberwa, era gy'okoma okumanya ebingi gy'okoma n'okunyolwa.